Read Yobu Chapter 32 Online
Read Yobu Chapter 32 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 32
Essuula 32
1. Awo abasajja abo abasatu ne baleka okuddamu Yobu, kubanga yali mutuukirivu mu maaso ge ye.
2. Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mutuukirivu so si Katonda.
3. Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gye bonsatule kubanga tebaalaba kya kuddamu, naye ne basalira Yobu okumusinga.
4. Era Eriku yali alindiridde okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abaamusinga obukulu.
5. Awo Eriku bwe yalaba nga mu kamwa k'abasajja abo abasatu temuli kya kuddamu, obusungu bwe ne bubuubuuka.
6. Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'ayogera nti Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo; Kyennavudde nzibiikiriza ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza.
7. Njogedde nti Ennaku ze zandyogedde, Olufulube lw'emyaka lwandiyigirizza amagezi.
8. Naye waliwo omwoyo mu bantu, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gubawa okutegeera.
9. Abakulu si be bagezi, So n'abakadde si be bategeera emisango.
10. Kyenvudde njogera nti Mumpulire; Era nange naalaga kye ndowooza.
11. Laba, nnindiridde ebigambo byammwe, Mpulirizza ensonga zammwe, Nga munoonya bye muba mwogera.
12. Weewaawo, nteze okutu eri mmwe, Era, laba, nga tewali asinze Yobu, Newakubadde azzeemu ebigambo bye ku mmwe.
13. Mwekuume muleme okwogera nti Tulabye amagezi; Mpozzi Katonda ayinza okumuwangula, si bantu:
14. Kubanga ebigambo bye tabyolekezza nze; So ssiimuddemu na kwogera kwammwe.
15. Basamaaliridde, tebakyayanukula: Tebalina kigambo kya kwogera.
16. Nange naalindirira, kubanga teboogera, Kubanga bayimirira buyimirizi nga tebakyayanukula?
17. Era nange naayanukula ebyange, Era nange naalaga kye ndowooza.
18. Kubanga njijudde ebigambo; Omwoyo gwange oguli mu nze gumpaliriza.
19. Laba, olubuto lwange luliŋŋanga omwenge ogutaliiko we gufulumira; Ng'amaliba amaggya lwagala okwabika.
20. Naayogera ndyoke mpeereweere; Naayasama emimwa gyange ne nziramu.
21. Nkwegayiridde, nneme okusosola mu bantu eri omuntu yenna; So ssiiwe muntu yenna mannya ganyumiikiriza.
22. Kubanga simanyi kuwa mannya ganyumiikiriza; Omutonzi wange yandinziyeewo mangu.
About Yobu Chapter 32
Read Yobu Chapter 32 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 32
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 32 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 32?
Yobu Chapter 32 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 32 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 33
- Yobu Chapter 3
- Yobu Chapter 29
- Yobu Chapter 15
- Yobu Chapter 5
- Yobu Chapter 10
- Yobu Chapter 31