Ezekyeri Chapter 28

For English

Read Ezekyeri Chapter 28 Online

Read Ezekyeri Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezekyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ezekyeri 28

Essuula 28

1. Ekigambo kya Mukama ne kinjiiira nate nga kyogera nti

2. Omwana w'omuntu, gamba omulangira w’e Ttuulo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga omutima gwo gugulumizibbwa n'oyogera nti Nze katonda, ntudde ku ntebe ya Katonda wakati mu nnyanja: era naye oli muntu buntu so si Katonda, newakubadde nga wasimba omutima gwo ng'omutima gwa Katonda:

3. laba, olina amagezi okusinga Danyeri; tewali kyama kye bayinza okukukweka:

4. weefunira obugagga olw'amagezi go n'okutegeera kwo, n'ofuna ezaabu ne ffeeza mu by'obugagga byo:

5. oyongedde obugagga bwo olw'amagezi go amangi n'olw'okusuubula kwo, n'omutima gwo gugulumizibwa olw'obugagga bwo:

6. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga osimbye omutima gwo ng'omutima gwa Katonda;

7. laba, kyendiva nkuleetako bannaggwanga, ab'entiisa ab'omu mawanga: kale balisowola ebitala byabwe okulwanyisa obulungi obw'amagezi go, era balyonoona okumasamasa kwo.

8. Balikussa mu bunnya; era olifa ng'abo bwe bafa abattirwa mu mutima gw'ennyanja.

9. Olyeyongera nate okugambira mu maaso g'oyo akutta nti Nze Katonda? naye oli muntu buntu so si Katonda mu mukono gw'oyo akufumita.

10. Olifa ng'abo bwe bafa abatali bakomole n'omukono gwa bannaggwanga: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.

11. Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti

12. Omwana w'omuntu, tanula okukungubagira kabaka w'e Ttuulo omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ossa akabonero ku muwendo, ng'ojjudde amagezi, ng'otuukiridde obulungi.

13. Wali mu Adeni olusuku lwa Katonda; buli jjinja ery'omuwendo omungi lyabanga lya kukubikkako, sadio, topazi, ne alimasi, berulo, sokamu, ne yasepi, safiro, ejjinja erya nnawandagala, ne kabunkulo, ne zaabu: emirimu egy'ebitaasa byo n'egy'endere zo gyali mu ggwe; gyategekebwa ku lunaku kwe watonderwa.

14. Wali kerubi eyafukibwako amafuta abikkako: era nze nakusimba n'okubeera n'obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu; watambula eruuyi n'eruuyi wakati mu mayinja ag'omuliro.

15. Wali ng'otuukiridde mu makubo go okuva ku lunaku kwe watonderwa okutuusa obutali butuukirivu lwe bwalabika mu ggwe.

16. Baakujuzza wakati ekyejo olw'olufulube olw'okusuubula kwo, n'oyonoona: kyenvudde nkusuula nga nkuggya ku lusozi lwa Katonda nga nkulanga obwonoonefu; era nkuzikirizza, ai kerubi abikkako, okuva wakati mu mayinja ag'omuliro.

17. Omutima gwo gwagulumizibwa olw'obulungi bwo, wakyamya amagezi go olw'okumasamasa kwo: nkusudde wansi, nkutadde mu maaso ga bakabaka, bakutunuulire.

18. Wayonoona ebifo byo ebitukuvu olw'olufulube olw'obutali butuukirivu bwo mu kusuubula kwo okutali kwa mazima; kyenvudde nziya omuliro wakati mu ggwe, gukwokezza, era nkufudde evvu ku ttaka mu maaso g'abo bonna abakutunuulira.

19. Abo bonna abakumanyi mu mawanga balikwewuunya: ofuuse entiisa so toobengawo nate ennaku zonna.

20. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti

21. Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Sidoni kiragule,

22. oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nze ndi mulabe wo, ai Sidoni; era ndigulumizibwa wakati mu ggwe: kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okutuukiririza mu kyo emisango, ne ntukuzibwa mu kyo

23. Kubanga ndiweereza mu kyo kawumpuli n'omusaayi mu nguudo zaakyo; n'abaliko ebiwundu baligwa wakati mu kyo, ekitala nga kikirumba enjuyi zonna; kale balimanya nga nze Mukama.

24. Kale tewalibaawo nate omweramannyo ogufumita eri ennyumba ya Isiraeri newakubadde eriggwa erinakuwaza ku abo bonna ababeetoolodde, abaabagiriranga ekyejo; kale balimanya nga nze Mukama Katonda.

25. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndiba nga mmaze okukuŋŋaanya ennyumba ya Isiraeri okubaggya mu mawanga, mwe baasaasaanyizibwa, ne ntukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga, kale balituula mu nsi yaabwe gye nnawa omuddu wange Yakobo.

26. Era balituula omwo mirembe; weewaawo, balizimba ennyumba ne basimba ensuku ez'emizabbibu, ne batuula mirembe nga tebaliiko kye batya; bwe ndiba nga mmaze okutuukiriza emisango ku abo bonna abaabagirira ekyejo ababeetoolodde; kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.

About Ezekyeri Chapter 28

Read Ezekyeri Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ezekyeri
Chapter: 28
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezekyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ezekyeri Chapter 28 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ezekyeri Chapter 28?

Ezekyeri Chapter 28 is part of the Book of Ezekyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ezekyeri Chapter 28 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Ezekyeri

  1. Ezekyeri Chapter 32
  2. Ezekyeri Chapter 24
  3. Ezekyeri Chapter 13
  4. Ezekyeri Chapter 46
  5. Ezekyeri Chapter 25
  6. Ezekyeri Chapter 34
  7. Ezekyeri Chapter 4

Related Chapters & Readings

  1. Yokaana Chapter 19
  2. Zabbuli Chapter 21
  3. Malaki Chapter 1
  4. Olubereberye Chapter 20
  5. 2 Samwiri Chapter 13
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 33
  7. Isaaya Chapter 25
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *