Read Koseya Chapter 9 Online
Read Koseya Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Koseya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Koseya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Koseya 9
Essuula 9
1. Tosanyuka, ai Isiraeri, n'essanyu ng'amawanga; kubanga ogenze ng'oyenda okuva ku Katonda wo, weegomba empeera ku buli gguuliro.
2. Egguuliro n'essogolero tebiribaliisa, n'omwenge omusu gulimuggwaako.
3. Tebalibeera mu nsi ya Mukama; naye Efulayimu aliddayo mu Misiri, era baliriira mu Bwasuli emmere eteri nnongoofu.
4. Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama, so talibasanyukira: ssaddaaka zaabwe ziriba gye bali ng'emmere y'abakungubazi; bonna abanaagiryangako baliba boonoonese: kubanga emmere yaabwe eriba ya kukkutibwa bukkutibwa; teriyingira mu nnyumba ya Mukama.
5. Mulikola ki ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, ne ku lunaku olw'embaga ya Mukama?
6. Kubanga, laba, bagenze okuva awali okuzikirira, era naye Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika: ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa emyennyango giribyemala: amaggwa galiba mu weema zaabwe.
7. Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya: nnabbi musirusiru, omusajja alina omwoyo alaluse, olw'olufulube lw'obutali butuukirivu bwo, era kubanga obulabe bungi.
8. Efulayimu yabanga mukuumi eri Katonda wange: nnabbi, ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda we.
9. Beeyonoonye nnyo nnyini nga mu nnaku ez'e Gibeya: alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, alibabonereza olw'ebibi byabwe.
10. Nasanga Isiraeri ng'ezabbibu mu ddungu; nalaba bajjajjammwe ng'esooka okwengera ku mutiini mu mwaka gwagwo ogw'olubereberye: naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira ekyo ekikwasa ensonyi, ne bafuuka ab'emizizo ng'ekyo kye bayagala.
11. Efulayimu ekitiibwa kyabwe kiribuuka; kirigenda ng'ennyonyi: tewaliba kuzaala newakubadde ali olubuto newakubadde eggwako.
12. Newakubadde nga balera abaana baabwe; era naye ndibafiisiza, ne wataba muntu asigaddewo: weewaawo, era ziribasanga bwe ndibavaako.
13. Efulayimu asimbibwa mu kifo eky'okwesiima, nga bwe nnalaba Ttuulo: naye Efulayimu alifulumya abaana be eri omussi.
14. Bawe, ai Mukama: oliwa ki? bawe olubuto olutaasa n'amabeere amakalu.
15. Obubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; kubanga eyo gye nnabakyayira: olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange: siribaagala nate; abakungu baabwe bonna bajeemu.
16. Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala: weewaawo newakubadde nga bazaala, era naye nditta ekibala eky'olubuto lwabwe ekyagalwa.
17. Katonda wange alibasuula kubanga tebaamuwulira: era baliba mmomboze mu mawanga.
About Koseya Chapter 9
Read Koseya Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Koseya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Koseya
Chapter: 9
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Koseya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Koseya Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Koseya Chapter 9?
Koseya Chapter 9 is part of the Book of Koseya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Koseya Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from koseya
- Koseya Chapter 11
- Koseya Chapter 12
- Koseya Chapter 13
- Koseya Chapter 2
- Koseya Chapter 8
- Koseya Chapter 6
- Koseya Chapter 14