Engero Chapter 13

For English

Read Engero Chapter 13 Online

Read Engero Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 13

Essuula 13

1. Omwana ow'amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa.

2. Omuntu anaalyanga ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: Naye emmeeme ey'abasala enkwe eneeryanga kugirirwa kyejo.

3. Akuuma akamwa ke anyweza obulamu bwe: Naye ayasama ennyo akamwa ke aliba n'okuzikirira.

4. Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba n'eteba na kintu: Naye emmeeme ey'abanyiikivu eneegejjanga.

5. Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba: Naye omuntu omubi mugwagwa, era akwatibwa ensonyi.

6. Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu: Naye ekyejo kisuula oyo alina ebibi.

7. Wabaawo eyeegaggawaza, naye nga talina kintu: Wabaawo eyeeyavuwaza, naye ng'alina obugagga bungi.

8. Obugagga bwe bwe bununula obulamu bw'omuntu: Naye omwavu, tawulira kukanga kwonna.

9. Omusana ogw'abatuukirivu gusanyuka: Naye ettabaaza ey'ababi erizikizibwa.

10. Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abateesa obulungi.

11. Obugagga obufunibwa olw'ebigambo ebitaliimu bulikendeezebwa: Naye oyo akuŋŋaanya ng'akola emirimu aliba n'okwala.

12. Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: Naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu.

13. Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira: Naye oyo atya ekiragiro aliweebwa empeera.

14. Etteeka ery'omugezigezi nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa.

15. Okutegeera okulungi kuleeta okuganja: Naye ekkubo ery'abasala enkwe bbi.

16. Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya: Naye omusirusiru ayaliira obusirusiru.

17. Omubaka ow'ekyejo agwa mu bubi: Naye omutume omwesigwa kwe kulaama.

18. Obwavu n'ensonyi biriba by'oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo eri okuneenyezebwa alissibwamu ekitiibwa.

19. Ekyegombebwa bwe kituukirira kiwoomera emmeeme: Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru.

20. Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi: Naye munnaabwe w'abasirusiru alibalagalwa.

21. Obubi bugoberera abalina ebibi: Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi.

22. Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be: N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu.

23. Mu nnimiro ez'abaavu mulimu emmere nnyingi: Naye wabaawo azikirizibwa olw'obutagoberera nsonga.

24. Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.

25. Omutuukirivu alya, emmeeme ye n’ekkuta: Naye olubuto lw'ababi lulirumwa enjala.

About Engero Chapter 13

Read Engero Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 13
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 13 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 13?

Engero Chapter 13 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 13 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 31

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 2
  2. Engero Chapter 6
  3. Engero Chapter 27
  4. Engero Chapter 30
  5. Engero Chapter 23
  6. Engero Chapter 8
  7. Engero Chapter 17

Related Chapters & Readings

  1. Koseya Chapter 2
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 2
  3. Zabbuli Chapter 30
  4. Zabbuli Chapter 134
  5. 1 Samwiri Chapter 16
  6. 2 Bassekabaka Chapter 1
  7. Zabbuli Chapter 48
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *