Read Abaruumi Chapter 6 Online
Read Abaruumi Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaruumi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaruumi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Abaruumi 6
Essuula 6
1. Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga?
2. Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?
3. Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?
4. Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.
5. Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe
6. bwe tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guggibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi;
7. kubanga afa nga takyaliko musango eri ekibi.
8. Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye;
9. bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.
10. Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu: naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda.
11. Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
12. Kale ekibi kiremenga okufuga mu mubiri gwammwe ogufa, okuwuliranga okwegomba kwagwo:
13. so temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda.
14. Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.
15. Kale tukole tutya? tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa? Kitalo.
16. Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b'okuwulira, muli baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu?
17. Naye Katonda yeebale, kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye mwawulira mu mutima engeri eyo ey'okuyigirizibwa gye mwaweebwa;
18. kale bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu b'obutuukirivu.
19. Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe: kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba baddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byammwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa.
20. Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri obutuukirivu.
21. Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? kubanga enkomerero yaabyo kufa.
22. Naye kaakano bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutaggwaawo.
23. Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe.
About Abaruumi Chapter 6
Read Abaruumi Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaruumi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Abaruumi
Chapter: 6
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaruumi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Abaruumi Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Abaruumi Chapter 6?
Abaruumi Chapter 6 is part of the Book of Abaruumi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Abaruumi Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from abaruumi
- Abaruumi Chapter 1
- Abaruumi Chapter 9
- Abaruumi Chapter 3
- Abaruumi Chapter 2
- Abaruumi Chapter 11
- Abaruumi Chapter 16
- Abaruumi Chapter 13
Explore More from Endagaano Empya
- Okubikkulirwa Chapter 4
- Yokaana Chapter 6
- Yokaana Chapter 14
- Ebikolwa Chapter 9
- Lukka Chapter 4
- Yokaana Chapter 9
- Okubikkulirwa Chapter 21