Omubuulizi Chapter 12

For English

Read Omubuulizi Chapter 12 Online

Read Omubuulizi Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Omubuulizi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Omubuulizi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Omubuulizi 12

Essuula 12

1. Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti Sigisanyukira n'akamu;

2. enjuba n'omusana n'omwezi n'emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne bikomawo enkuba ng'emaze okutonnya.

3. ku lunaku abakuumi b'ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab'amaanyi ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa,

4. enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa;

5. weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n’ejjanzi lirizitowa, ne piripiri aliggwaawo: kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo:

6. omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba;

7. enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba.

8. Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu.

9. Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi.

10. Omubuulizi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n'ebyo ebyawandiikibwa n'obugolokofu, bye bigambo eby'amazima.

11. Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.

12. Era nate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri.

13. Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.

14. Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.

About Omubuulizi Chapter 12

Read Omubuulizi Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Omubuulizi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Omubuulizi
Chapter: 12
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Omubuulizi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Omubuulizi Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Omubuulizi Chapter 12?

Omubuulizi Chapter 12 is part of the Book of Omubuulizi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Omubuulizi Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 12
  2. Engero Chapter 23
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 10
  5. Engero Chapter 7
  6. Engero Chapter 26
  7. Engero Chapter 25

Explore More from omubuulizi

  1. Omubuulizi Chapter 5
  2. Omubuulizi Chapter 11
  3. Omubuulizi Chapter 8
  4. Omubuulizi Chapter 9
  5. Omubuulizi Chapter 4
  6. Omubuulizi Chapter 2
  7. Omubuulizi Chapter 6

Related Chapters & Readings

  1. Yobu Chapter 18
  2. Yobu Chapter 9
  3. Yobu Chapter 13
  4. 1 Abasessaloniika Chapter 4
  5. Okubala Chapter 15
  6. Mikka Chapter 3
  7. Ebyabaleevi Chapter 19
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *