Read Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7 Online
Read Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Oluyimba lwa Sulemaani in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Oluyimba lwa Sulemaani and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Oluyimba lwa Sulemaani 7
Essuula 7
1. Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w'omulangira! Ennyingo z'ebisambi byo ziri ng'eby'obuyonjo, Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba.
2. Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, Omutabuze mwenge gwonna ogutabulwa: Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano Eyonjebwa n'amalanga.
3. Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo.
4. Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga; Amaaso go gali nga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu: Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Ddamasiko.
5. Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri, N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu; Kabaka emibumbo gyazo gimusiba.
6. Ng'oli mulungi, ng'owoomerera, Ai gwe njagala, olw'okusanyusa!
7. Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu.
8. Nayogera nti Naalinya mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo: Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa;
9. N'akamwa ko ng'omwenge ogusinga obulungi, Ogumirwa obulungi oyo gwe njagala, nga guseeyeeya, Nga guyita mu mimwa gy'abo abeebase.
10. Nze ndi wa muganzi wange, N'okwegomba kwe kuli eri nze.
11. Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tusule mu byalo.
12. Tugende mu nsuku z'emizabbibu mu makya; Tulabe omuzabbibu oba nga gunulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange.
13. Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ai muganzi wange.
About Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7
Read Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Oluyimba lwa Sulemaani in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Oluyimba lwa Sulemaani
Chapter: 7
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Oluyimba lwa Sulemaani. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7?
Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7 is part of the Book of Oluyimba lwa Sulemaani in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 14
Explore More from oluyimba-lwa-sulemaani
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 1
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 5
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 2
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 8
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 3
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 6