Yeremiya Chapter 11

For English

Read Yeremiya Chapter 11 Online

Read Yeremiya Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 11

Essuula 11

1. Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti

2. Muwulire ebigambo eby'endagaano eno, era mugambe abasajja ba Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi;

3. obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Omusajja akolimirwe atawulira bigambo bya ndagaano eno,

4. gye nnalagirira bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, nga njogera nti Mugonderenga eddoboozi lyange mubikolenga nga byonna bwe biri bye mbalagira: bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange naabanga Katonda wammwe:

5. ndyoke nnywezenga ekirayiro kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki nga leero. Awo ne ndyoka nziramu ne njogera nti Amiina, ai Mukama.

6. Awo Mukama n'aŋŋamba nti Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ng'oyogera nti Muwulire ebigambo eby'endagaano eno mubikole.

7. Kubanga nategeereza ddala bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri ne leero, nga ngolokoka mu makya era nga ntegeeza, nga njogera nti Mugondere eddoboozi lyange.

8. Naye ne batagonda so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira buli muntu mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi: kyennava mbaleetako ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nnabalagira okukolanga, naye ne batabikola.

9. Awo Mukama n'aŋŋamba nti Okwekobaana kulabise mu basajja ba Yuda ne mu abo abali mu Yerusaalemi.

10. Bakyuse okudda mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange; era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga: ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nnalagaana ne bajjajjaabwe.

11. Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibaleetako obubi bwe bataliyinza kuwona; era balinkaabirira, naye siribawuliriza.

12. Awo ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi baligenda ne bakaabirira bakatonda be bootereza obubaane: naye tebalibalokolera n'akamu mu biro mwe balabira ennaku.

13. Kubanga ebibuga byammwe bwe byenkana obungi, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ai Yuda; era ng'enguudo ez'e Yerusaalemi bwe zenkana obungi, bwe musimbidde bwe mutyo ebyoto ekintu ekikwasa ensonyi, ebyoto eby'okwoterezangako obubaane eri Baali.

14. Kale ggwe tosabiranga bantu bano, so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba: kubanga siribawulirira mu biro mwe balinkaabirira olw'ennaku ze balabye.

15. Muganzi wange afaayo ki mu nnyumba yange, kubanga akoze eby'obukaba n'abangi, n'omubiri omutukuvu gukuvuddeko? bw'okola obubi lw'osanyuka.

16. Mukama yakutuuma erinnya nti Omuzeyituuni ogwera, omulungi nga guliko ebibala ebirungi: n'eddoboozi ery'oluyoogaano olunene agukumyeko omuliro, n'amatabi gaagwo gamenyese.

17. Kubanga Mukama w'eggye eyakusimba akwogeddeko obubi, olw'obubi obw'ennyumba ya Isiraeri n'obw'ennyumba ya Yuda bwe beekolera nga bansunguwaza olw'okwotereza Baali obubaane.

18. Awo Mukama n'akimmanyisa ne nkimanya: kale n'olyoka ondaga ebikolwa byabwe.

19. Naye nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa; so saamanya nga bansalidde enkwe, nga boogera nti Tuzikirize omuti wamu n'ebibala byagwo, tumuzikirize mu nsi ey'abalamu, erinnya lye baleme okulijjukira nate.

20. Naye, ai Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga, akema emmeeme n'omutima ndabe eggwanga ly'oliwalana ku bo: kubanga ggwe ntegeezezza ensonga yange.

21. Mukama kyava ayogera bw'ati eby'abasajja aba Anasosi abanoonya obulamu bwo nga boogera nti Tolaguliranga mu linnya lya Mukama, omukono gwaffe guleme okukutta:

22. Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibabonereza: abavubuka balifa kitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa njala;

23. so tebaliba na balifikkawo: kubanga ndireeta obubi ku basajja aba Anasosi, gwe mwaka mwe balijjirirwa.

About Yeremiya Chapter 11

Read Yeremiya Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 11
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 11 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 11?

Yeremiya Chapter 11 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 11 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 21
  2. Yeremiya Chapter 4
  3. Yeremiya Chapter 5
  4. Yeremiya Chapter 44
  5. Yeremiya Chapter 41
  6. Yeremiya Chapter 39
  7. Yeremiya Chapter 35

Related Chapters & Readings

  1. Olubereberye Chapter 30
  2. Ezekyeri Chapter 6
  3. Yeremiya Chapter 49
  4. 2 Bassekabaka Chapter 21
  5. Matayo Chapter 25
  6. Engero Chapter 23
  7. 2 Abasessaloniika Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *