Yobu Chapter 36

For English

Read Yobu Chapter 36 Online

Read Yobu Chapter 36 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 36

Essuula 36

1. Era nate Eriku ne yeeyongera n'ayogera nti

2. Sooka ondeke, nange naakunnyonnyola; Kubanga nkyaliko kye njagala okwogera ku lwa Katonda.

3. Naggya wala okumanya kwange, Era naamussaako obutuukirivu Omutonzi wange.

4. Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba: Omuntu eyatuukirira mu kumanya ali naawe.

5. Laba, Katonda wa maanyi, so tanyooma muntu yenna: Wa maanyi mu buyinza obw'okutegeera.

6. Takuuma bulamu bw'ababi: Naye abawa ababonyaabonyezebwa ebyabwe.

7. Taggya maaso ge ku batuukirivu Naye awali bakabaka ku ntebe Gy'abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa.

8. Era bwe baba nga basibiddwa n'amasamba, Era nga bakwasibwa n'emigwa egy'okubonyabonyezebwa;

9. Kale n'abalaga omulimu gwabwe, N'okusobya kwabwe nga bagize eby'amalala.

10. Era aggulawo okutu kwabwe okuwulira okuyigirizibwa, N'abalagira bakomewo okuva mu butali butuukirivu.

11. Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa, N'emyaka gyabwe nga basanyuka.

12. Naye bwe batawulira banaazikiriranga n'ekitala, Era banaafanga awatali kumanya.

13. Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu: Tebakuba nduulu bayambwe bw'abasiba.

14. Bafa nga bakyali bato, N'obulamu bwabwe buzikirira mu abo abatali balongoofu.

15. Awonya oyo abonyabonyezebwa olw'okubonyabonyezebwa kwe, Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa.

16. Weewaawo, yandikuggye mu kulaba ennaku N'akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa; N'ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu.

17. Naye ggwe ojjudde omusango gw'omubi: Omusango n'okusala eby'ensonga bikukwata.

18. Kubanga waliwo obusungu, weekuume oleme okutwalibwa n'obugagga So enguzi tekukyamyanga kubanga nnene.

19. Obugagga bwo bunaamala oleme okulaba ennaku, Oba obuyinza bwonna obw'amaanyi go?

20. Teweegomba kiro, Amawanga bwe gazikirizibwa mu kifo kyago.

21. Weekuume oleme okutunuulira obutali butuukirivu: Kubanga weerobozezza obwo okusinga okubonyabonyezebwa.

22. Laba, Katonda akola ebigulumivu mu buyinza bwe: Ani omuyigiriza afaanana ye?

23. Ani eyali amulagidde ekkubo lye? Oba ani ayinza okwogera nti Okoze ebitali bya butuukirivu?

24. Jjukira okugulumizanga omulimu gwe, Abantu gwe baayimbangako.

25. Abantu bonna baagutunuulira; Abantu baagulengera nga bayima wala.

26. Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi; Omuwendo gw'emyaka gye tegunoonyezeka.

27. Kubanga awalula waggulu amatondo g'amazzi, Agatonnya enkuba eva mu mukka gwe:

28. Eggulu ge liyiwa Ne ligatonnya ku bantu mangi nnyo.

29. Weewaawo, waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibambibwa, Okubwatuuka okw'omu weema ye?

30. Laba, yeeyaliirira omusana gwe okwetooloola; Era asaanikira ku nnyanja wansi.

31. Kubanga olw'ebyo asala emisango gy'amawanga; Agaba emmere nnyingi nnyo.

32. Abikka engalo ze n'enjota; Era aziragira zikube sabbaawa.

33. Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye, Era libuulira n'ente kibuyaga ayambuka.

About Yobu Chapter 36

Read Yobu Chapter 36 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 36
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 36 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 36?

Yobu Chapter 36 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 36 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 25
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 17
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 38
  2. Yobu Chapter 21
  3. Yobu Chapter 10
  4. Yobu Chapter 23
  5. Yobu Chapter 29
  6. Yobu Chapter 37
  7. Yobu Chapter 12

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 11
  2. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 1
  3. 1 Bassekabaka Chapter 18
  4. Isaaya Chapter 57
  5. 1 Bassekabaka Chapter 10
  6. Yeremiya Chapter 16
  7. Ekyamateeka Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *