Koseya Chapter 13

For English

Read Koseya Chapter 13 Online

Read Koseya Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Koseya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Koseya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Koseya 13

Essuula 13

1. Efulayimu bwe yayogera, ne wabaawo okukankana; yeegulumiza mu Isiraeri: naye bwe yayonoona olwa Baali, n'afa.

2. Awo kaakano beeyongerayongera okwonoona, era beekoledde ebifaananyi ebisaanuuse ne ffeeza yaabwe, esanamu ng'amagezi gaabwe bo bwe gali, zonna mulimu gwa mukozi: bazoogerako nti Abasajja abasala ssaddaaka banywegere ennyana.

3. Kyebaliva babeera ng'ekire eky'enkya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali, ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zitwala okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguva mu kituli ogufuluma.

4. Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wazira nze.

5. Nakumanyira mu ddungu, mu nsi ey'ennyonta ennyingi.

6. Ng'eddundiro lyabwe bwe lyabanga, bwe bakkutanga bwe batyo; bakkuta, omutima gwabwe ne gwegulumiza; kyebavudde banneerabira nze.

7. Kyenvudde mbeera gye bali ng'empologoma: ng'engo nditeegera mu kkubo:

8. ndisisinkana nabo ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza olubiko olw'oku mutima gwabwe: era ndibaliira eyo ng'empologoma; ensolo ey'omu nsiko eribataagula.

9. Kwe kuzikirira kwo, ai Isiraeri, kubanga oli mulabe wange, omulabe w'omubeezi wo.

10. Kabaka wo nno ali ludda wa, akulokole mu bibuga byo byonna? n'abalamuzi bo be wayogerako nti Mpa kabaka n'abakungu?

11. Nkuwadde kabaka nga ndiko obusungu, era mmuggyeewo nga ndiko ekiruyi.

12. Obutali butuukirivu bwa Efulayimu busibiddwa; ekibi kye kiterekeddwa.

13. Obubalagaze bw'omukazi alumwa okuzaala bulimutuukako: ye mwana atalina magezi; kubanga ekiseera kituuse aleme okulwa mu kifo omuyita abaana nga bazaalibwa.

14. Ndibanunula eri amaanyi ag'amagombe; ndibagula okuva eri okufa: ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? okwenenya kulikwekebwa amaaso gange.

15. Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, omukka gwa Mukama ogulinnya okuva mu ddungu, oluzzi lwe ne lukalira, ensulo ye n'eggwaawo: alinyaga ebibya byonna ebisanyusa ebyaterekebwa.

16. Samaliya alibaako omusango gwe; kubanga ajeemedde Katonda we: baligwa n'ekitala; abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.

About Koseya Chapter 13

Read Koseya Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Koseya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Koseya
Chapter: 13
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Koseya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Koseya Chapter 13 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Koseya Chapter 13?

Koseya Chapter 13 is part of the Book of Koseya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Koseya Chapter 13 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from koseya

  1. Koseya Chapter 2
  2. Koseya Chapter 14
  3. Koseya Chapter 10
  4. Koseya Chapter 8
  5. Koseya Chapter 12
  6. Koseya Chapter 1
  7. Koseya Chapter 11

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 48
  2. Eseza Chapter 10
  3. Okubala Chapter 6
  4. Ezekyeri Chapter 3
  5. Isaaya Chapter 14
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 10
  7. Yeremiya Chapter 37
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *