Yobu Chapter 10

For English

Read Yobu Chapter 10 Online

Read Yobu Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 10

Essuula 10

1. Emmeeme yange enyiye obulamu bwange; Naafukumula okwemulugunya kwange; Naayogeza kkabyo lya mmeeme Yange.

2. Naagamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga; Ntegeeza kyova owakana nange.

3. Okiyita kirungi ggwe okujooga, Okunyooma omulimu gw'engalo zo, N'oyakira okuteesa kw'ababi?

4. Olina amaaso ag'omubiri, Oba ggwe olaba ng'abantu bwe balaba?

5. Ennaku zo ziriŋŋanga ennaku ez'abantu, Oba emyaka gyo ng'ennaku ez'abantu,

6. N'okubuuza n'obuuza obutali butuukirivu bwange, N'onoonya okwonoona kwange,

7. Newakubadde ng'omanyi nga ssiri mubi; So tewali ayinza okuwonya mu mukono gwo?

8. Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola Wamu eruuyi n'eruuyi; naye onzikiriza.

9. Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba ng'ettaka; Era olinziza nate mu nfuufu?

10. Tonzituludde ng'amata, N'onkwasa ng'amata amakalu?

11. Wannyambaza eddiba n'omubiri, Era wangatta wamu n'amagumba n'ebinywa.

12. Wampa obulamu n'okuganja, N'okujja kwo gye ndi kwe kwakuuma omwoyo gwange.

13. Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo; Mmanyi ng'ekyo kiri naawe:

14. Bwe nnyonoona, kale oneetegereza, So tolinziyako butali butuukirivu bwange.

15. Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange; Nga nswazibwa nnyo Era nga ntunuulira ennaku ze ndaba.

16. Era omutwe gwange bwe gwegulumiza, onjigganya ng'empologoma: Era nate weeraga ow'ekitalo gye ndi.

17. Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze, N'onnyongerako okunyiiga kwo; Ebikyukakyuka n'obulwa biri nange.

18. Kale kiki ekyakunziyisa mu lubuto? Nanditadde omukka, so tewandibaddewo liiso eryandindabye:

19. Nandibadde ng'atabangawo; Nandisituliddwa okuva mu lubuto okuntwala mu ntaana.

20. Ennaku zange si ntono? Kale lekera awo, Ondeke nsanyusibweko katono,

21. Nga sinnagenda eyo gye ssiivenga kukomawo, Ye nsi ey'ekizikiza n'ey'ekisiikirize eky'okufa;

22. Ensi ey'ekizikiza ekikutte, ng'ekizikiza kyennyini bwe kiri; Ensi ey'ekisiikirize eky'okufa awatali kuteekateeka, Era omusana gwayo guliŋŋanga ekizikiza.

About Yobu Chapter 10

Read Yobu Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 10
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 10?

Yobu Chapter 10 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 25
  2. Yobu Chapter 3
  3. Yobu Chapter 30
  4. Yobu Chapter 36
  5. Yobu Chapter 31
  6. Yobu Chapter 41
  7. Yobu Chapter 24

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 118
  2. Okuva Chapter 18
  3. Zabbuli Chapter 75
  4. Ekyamateeka Chapter 19
  5. Ebikolwa Chapter 15
  6. 2 Bassekabaka Chapter 24
  7. Isaaya Chapter 62
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *