Read Yobu Chapter 24 Online
Read Yobu Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 24
Essuula 24
1. Omuyinza w'ebintu byonna kiki ekimulobera okutereka ebiro? N'abo abamumanyi kiki ekibalobera okulaba ennaku ze?
2. Wabaawo abajjulula obubonero bw'ensalo; Banyaga embuzi lwa maanyi ne baziriisa.
3. Bagoba endogoyi ey'abatalina kitaabwe, Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo.
4. Bakyamya abeetaaga mu kkubo: Abaavu ab'omu nsi beekweka wamu.
5. Laba, ng'entulege mu ddungu Bafuluma eri omulimu gwabwe nga banoonyeza ddala eby'okulya; Ensiko ebawa emmere ya baana baabwe.
6. Basala emmere ey'ensolo zaabwe mu ttale; Era banoga ezabbibu ez'omubi.
7. Basula ne bakeesa obudde nga tebaliiko kye bambadde, So tebaliiko kye beebikka empewo nga zifuuwa.
8. Batoba n'oluwandaggirize olw'oku nsozi, Era bavumbagira olwazi nga babuliddwa we beggama.
9. Wabaawo abakwakula abatalina kitaabwe okubaggya ku mabeere, Ne baggya omusingo ku mwavu:
10. N'okutambula ne batambula bwereere nga tebalina kye bambadde, Era enjala ng'ebalumye beetikka ebinywa;
11. Bakamulira amafuta mu bisenge by'abasajja abo; Balinya amasogolero gaabwe ne balumwa ennyonta.
12. Abantu basinda nga bali mu kibuga ekirimu abantu abangi, Emmeeme y'abo abafumitiddwa n'ekaaba: Naye Katonda takibala okuba obusirusiru.
13. Abo bali ku muwendo gw'abo abajeemera omusana; Tebamanyi makubo gaagwo, So tebabeerera mu mpenda zaagwo.
14. Omussi agolokokera wamu n'omusana, atta omwavu ne yeetaaga; Era ekiro aba ng'omubbi.
15. Era n'eriiso ly'omwenzi lirindirira ekizikiza, Ng'ayogera nti Tewali liiso erinandaba: Ne yeefuula amaaso ge.
16. Mu kizikiza mwe basimira ennyumba: Beggalira emisana; Tebamanyi musana.
17. Kubanga obw'enkya buli ng'ekisiikirize eky'okufa eri abo bonna; Kubanga bamanyi ebitiisa eby'ekisiikirize eky'okufa.
18. Aba wa mbiro ng'amazzi; Omugabo gwabwe gukolimiddwa ku nsi: Takyukira awali ekkubo ery'ensuku z'emizabbibu.
19. Ekyeya n'ebbugumu bimalawo amazzi agava mu muzira: N'amagombe bwe gatyo gamalawo abo abayonoona.
20. Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga ng'ewoomeddwa; Tajjukirwenga nate: Kale obutali butuukirivu bunaamenyekanga ng'omuti.
21. Alya omugumba atazaala; So takola nnamwandu bulungi.
22. Era awalula n'ab'amaanyi olw'obuyinza bwe: Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu.
23. Katonda abawa okuba emirembe, ne beesigama okwo; N'amaaso ge gali ku makubo gaabwe.
24. Bagulumizibwa; ne wayitawo ebbanga ttono nga bagenze; Weewaawo, bakkakkanyizibwa, baggibwa mu kkubo ng'abalala bonna, Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano.
25. Era oba nga si bwe kiri kaakano, ani anannumiriza nga ndi mulimba, N'afuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa?
About Yobu Chapter 24
Read Yobu Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 24
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 24 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 24?
Yobu Chapter 24 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 24 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 23
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 16
- Yobu Chapter 6
- Yobu Chapter 11
- Yobu Chapter 4
- Yobu Chapter 22
- Yobu Chapter 30
- Yobu Chapter 17