Read Yobu Chapter 14 Online
Read Yobu Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 14
Essuula 14
1. Omuntu azaalibwa omukazi wa nnakku si nnyigi, era ajjude obuyinike.
2. Amulisa ng'ekimuli n'atemebwa: Era adduka ng'ekisiikirize so tabeerera.
3. Naawe omuzibulira amaaso go afaanana bw'atyo, N'ondeeta mu musango nze naawe?
4. Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali korongoofu? tewali n'omu.
5. Kubanga ennaku ze zaateesebwa, omuwendo gw'emyezi gye guli naawe, Era wamuteekerawo ensalo ze z'atayinza kusukkako;
6. Muggyeeko amaaso go awummule, Okutuusa lw'alimala olunaku lwe ng'akolera empeera.
7. Kubanga waliwo essuubi ery'omuti bwe gutemebwa nga guliroka nate, Era ng'ettabi lyagwo etto teririfa.
8. Ekikolo kyagwo newakubadde nga kikaddiwa mu ttaka, N'ekikonge kyagwo ne kifiira mu nsi;
9. Naye olw'akaloosa k'amazzi gulimulisa, Ne gusuula amatabi ng'ekisimbe.
10. Naye omuntu afa era ayongobera: Weewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa?
11. Ng'amazzi bwe gaggweerera mu nnyanja, N'omugga nga bwe guggwaawo ne gukalira;
12. Bw'atyo n'omuntu agalamira n'atayimuka: Okutuusa eggulu lwe litalibaawo nate, tebalizuukuka, So tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe.
13. Singa onkwese mu magombe, Singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n'onjijukira!
14. Omuntu bw'afa aliba mulamu nate? Nandirindiridde ne mmala ennaku zonna ez'olutabaalo lwange, Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze.
15. Wandimpise, nange nandikuyitabye: Wandibadde n'okwegomba eri omulimu gw'emikono gyo.
16. Naye kaakano obala ebigere byange: Tolabirira kwonoona kwange?
17. Okusobya kwange kuteekeddwako akabonero mu nsawo, Era osibira ddala obutali butuukirivu bwange.
18. Era mazima olusozi olugwa luggwaawo, N'olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo;
19. Amazzi gasiriiza amayinja; Okwaajaala kwago kufumbiikiriza enfuufu ey'oku nsi: Era ozikiriza essuubi ery'omuntu.
20. Ennaku zonna ng'omuwangula, n'ayitawo; Owaanyisa amaaso ge n'omusindika.
21. Batabani be batuuka mu kitiibwa, ye nga takimanyi; Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategeera bwe bali.
22. Naye omubiri gwe oguli ku ye gulumwa, N'emmeeme ye eri munda ye enakuwala.
About Yobu Chapter 14
Read Yobu Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 14
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 14 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 14?
Yobu Chapter 14 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 14 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 30
- Yobu Chapter 40
- Yobu Chapter 29
- Yobu Chapter 10
- Yobu Chapter 28
- Yobu Chapter 20
- Yobu Chapter 39