Read Yobu Chapter 6 Online
Read Yobu Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 6
Essuula 6
1. Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2. Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku zange singa ziteekeddwa mu minzaani wamu!
3. Kubanga kaakano zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja: Ebigambo byange kye bivudde bibeera eby'okwanguyiriza.
4. Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna buli munda yange, N'obusagwa bwabwo omwoyo gwange gubunywa: Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange.
5. Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo?
6. Ekitaliimu nsa kiriika awatali munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma?
7. Emmeeme yange egaana okubikomako; Biriŋŋanga ebyokulya eby'omuzizo gye ndi.
8. Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba !
9. Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo!
10. Kale bwe nnandibadde n'okusanyusibwa nga mmaze Weewaawo, nandijaguzizza olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu.
11. Amaanyi gange kye ki, nnindirire? N'enkomerero yange kye ki, ngumiikirize?
12. Amaanyi gange maanyi ga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo?
13. Si kubanga sirina kinnyamba mu nze? N'okukola okw'amaanyi kugobeddwa ddala gye ndi?
14. Ayagala okuzirika agwana mukwano gwe okumukola eby'ekisa; Era n'oyo aleka okutya Omuyinza w'ebintu byonna.
15. Baganda bange balimbyerimbye ng'akagga, Ng'olusalosalo lw'obugga oluggwaawo:
16. Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka:
17. Buli lwe bubuguma, ne bubula: Ebbugumu bwe libaawo, bumalibwawo okuva mu kifo kyabwo.
18. Essafaali ezitambula ku mabbali gaabwo ne zikyama; Bambuka mu ddungu ne bazikirira.
19. Essafaali z'e Tema zaatunula, Ebibiina eby'e Seeba byabulindirira.
20. Baakwatibwa ensonyi kubanga baasuubira; Bajja eyo ne baswazibwa.
21. Kubanga kaakano temuliiko kye muli; Mulaba ekitiisa ne mutya.
22. Nali mbagambye nti Mpa? Oba nti Muweeyo ku bintu byammwe ekirabo ku lwange?
23. Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi?
24. Munjigirize nange naasirika: Era muntegeeze bwe kiri kye nnasobya.
25. Ebigambo eby'obugolokofu nga bya maanyi! Naye okuwakana kwammwe kunenya ki?
26. Mulowooza okunenya ebigambo? Kubanga okwogera kw'oyo atalina ssuubi biriŋŋanga empewo.
27. Weewaawo, mwandikubidde obululu atalina kitaawe, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba.
28. Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe.
29. Muddeeyo, mbeegayiridde, waleme okubaawo ebitali bya nsonga; Weewaawo, muddeeyo nate, ensonga yange nnungi.
30. Ku lulimi lwange kuliko ebitali bya nsonga? Amatama gange tegayinza kwawula bigambo ebireeta akabi?
About Yobu Chapter 6
Read Yobu Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 6
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 6?
Yobu Chapter 6 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 10
- Yobu Chapter 40
- Yobu Chapter 42
- Yobu Chapter 23
- Yobu Chapter 21
- Yobu Chapter 32
- Yobu Chapter 35