Yobu Chapter 22

For English

Read Yobu Chapter 22 Online

Read Yobu Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 22

Essuula 22

1. Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti

2. Omuntu ayinza okugasa Katonda? Mazima ow'amagezi yeegasa yekka.

3. Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w'ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go?

4. Kubanga omutya kyava akunenya, Kyava asala omusango gwo?

5. Obubi bwo si bungi? So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko gye bukoma.

6. Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy'obwereere, N'oyambula abaali obwereere ebyambalo byabwe.

7. Tonywesanga mazzi omukoowu, Era wamma omuyala emmere.

8. Naye ow'amaanyi ye yalya ensi; N'ow'ekitiibwa ye yagibeeramu.

9. Wasindika bannammwandu nga tebalina kintu, N'emikono gy'abatalina kitaabwe gyamenyeka.

10. Obukunizo kyebuva bukwetooloola, N'entiisa gy'otomanyiridde ekweraliikiriza,

11. Oba ekizikiza n'otoyinza kulaba, Amazzi amangi ne gakubikkako.

12. Katonda tali mu ggulu awagulumizibwa? Era laba emmunyeenye bwe zenkana obugulumivu!

13. Naawe oyogera nti Katonda amanyi ki? Ayinza okusala omusango ng'ayima mu kizikiza ekikutte?

14. Ebire ebiziyivu bimubikkako n'okulaba talaba; Era atambulira mu kwekulungirira kw'eggulu.

15. Oyagala okukwata ekkubo ery'edda Abantu ababi lye baalinnyirangamu?

16. Abaakwakulibwa entuuko zaabwe nga tezinnabaawo, Omusingi gwabwe ne gufukibwa ng'omugga:

17. Abaagambanga Katonda nti Tuveeko: Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukolera ki?

18. Naye yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi: Naye okuteesa kw'ababi kundi wala.

19. Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka; N'ataliiko musango abasekerera nnyo:

20. Ng'ayogera nti Mazima abo abaatugolokokerako bamaliddwawo, N'abo abafisseewo omuliro gubookezza.

21. Yiga nno obeere n'emirembe: Bw'otyo bw'onoobanga n'ebirungi.

22. Nkwegayiridde, kkiriza amateeka eri akamwa ke, Era tereka ebigambo bye mu mutima gwo.

23. Bw'onookomangawo eri Omuyinza w'ebintu byonna, onoozimbibwanga; Bw'onoggyangawo obutali butuukirivu okuba ewala n'eweema zo.

24. N'oteeka ebibyo eby'obugagga mu nfuufu, Ne zaabu eya Ofiri mu mayinja ag'omu bugga;

25. Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo, Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli.

26. Kubanga lw'onoosanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda.

27. Onoosabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga; Era onoosasulanga obweyamo bwo.

28. Era onoolagiranga ekigambo ne kinywera gy'oli; N'omusana gunaayakiranga amakubo go.

29. Bwe bakusuula, onooyogeranga nti Waliwo okuyimusibwa; Era anaalokolanga eyeetoowaza.

30. Anaawonyanga n'oyo aba taliiko musango: Weewaawo, anaawonyezebwanga olw'obulongoofu bw'engalo zo.

About Yobu Chapter 22

Read Yobu Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 22
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 22 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 22?

Yobu Chapter 22 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 22 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 8
  2. Yobu Chapter 31
  3. Yobu Chapter 30
  4. Yobu Chapter 1
  5. Yobu Chapter 15
  6. Yobu Chapter 2
  7. Yobu Chapter 37

Related Chapters & Readings

  1. Ekyamateeka Chapter 23
  2. Matayo Chapter 17
  3. Okubala Chapter 27
  4. Ezera Chapter 5
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 3
  6. Ekyamateeka Chapter 11
  7. Olubereberye Chapter 28
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *