Yobu Chapter 42

For English

Read Yobu Chapter 42 Online

Read Yobu Chapter 42 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 42

Essuula 42

1. Awo Yobu n'addamu Mukama n'ayogera nti

2. Mmanyi nga ggwe oyinza byonna, Era nga tewali kigambo kye wateesa ekiziyizika.

3. Ani ono akisa okuteesa awatali kumanya? Kyennavudde njatula ebyo bye ssaategedde, Ebigambo eby'ekitalo ebyannemye bye ssaamanye.

4. Nkwegayiridde, wulira, nange ka njogere; Naakubuuza, naawe onziremu.

5. Nali nkuwuliddeko n'okuwulira kw'okutu; Naye kaakano eriiso lyange likulaba,

6. Kyenvudde neetamwa ne nneenenya Mu nfuufu n'evvu.

7. Awo olwatuuka Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, Mukama n'agamba Erifaazi Omutemani nti Obusungu bwange bukubuubuukidde ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko ekigambo ekirina ensonga, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.

8. Kale nno mwetwalire ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa; era omuddu wange Yobu anaabasabira; kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe buli; kubanga temunjogeddeko kigambo ekirina ensonga ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde:

9. Awo Erifaazi Omutemani ne Birudaadi Omusuki ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bw'abalagidde: kale Mukama n'akkiriza Yobu.

10. Awo Mukama n'akyusa obusibe bwa Yobu, bwe yasabira mikwano gye: Mukama n'awa Yobu okusinga emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.

11. Awo baganda be bonna ne bajja gy'ali ne bannyina bonna n'abo bonna be yamanyagananga nabo olubereberye, ne baliira emmere wamu naye mu nnyumba ye: ne bamukaabira ne bamukubagiza olw'obubi bwonna Mukama bwe yamuleetako: era buli muntu n'amuwa ekitundu ekya ffeeza, na buli muntu empeta eya zaabu.

12. Awo Mukama n'awa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye: n'aba n'endiga kakumi mu enkumi nnya, n'eŋŋamira kakaaga, n'emigogo gy'ente lukumi n'endogoyi enkazi lukumi.

13. Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu.

14. N'ow'olubereberye n’amutuuma erinnya Yemima; n'ow'okubiri erinnya lye Keeziya; n'ow'okusatu erinnya lye Kerenukappuki.

15. Awo mu nsi yonna ne watalabika abakazi abalungi okwenkana abawala ba Yobu: kitaabwe n'abawa obusika mu baganda baabwe.

16. Awo oluvannyuma lw'ebyo Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba batabani be n'abaana ba batabani be, bannakasatwe.

17. Awo Yobu n'afa nga mukadde ng'awezezza ennaku nnyingi.

About Yobu Chapter 42

Read Yobu Chapter 42 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 42
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 42 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 42?

Yobu Chapter 42 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 42 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 40
  2. Yobu Chapter 3
  3. Yobu Chapter 19
  4. Yobu Chapter 10
  5. Yobu Chapter 25
  6. Yobu Chapter 29
  7. Yobu Chapter 23

Related Chapters & Readings

  1. Olubereberye Chapter 21
  2. Tito Chapter 1
  3. Yeremiya Chapter 45
  4. Ezekyeri Chapter 11
  5. Olubereberye Chapter 16
  6. Zabbuli Chapter 110
  7. 2 Samwiri Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *