2 Bassekabaka Chapter 21

For English

Read 2 Bassekabaka Chapter 21 Online

Read 2 Bassekabaka Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Bassekabaka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Bassekabaka 21

Essuula 21

1. Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n'ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kefuziba.

2. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.

3. N'azimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yazikiriza; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Asera nga Akabu kabaka wa Isiraeri bwe yakola n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza.

4. N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange.

5. Era n'azimbira eggye lyonna ery'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama.

6. N'ayisa mu muliro mutabani we, n'akola eby'obufumu n'aba n'eby'obulogo, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.

7. N'asimba ekifaananyi ekyole ekya Asera kye yakola mu nnyumba Mukama gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri mwe nditeeka erinnya lyange emirembe gyonna:

8. so siriwabya nate bigere bya Isiraeri okuva mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; kyokka bwe baneekuumanga okukola nga byonna bwe biri bye mbalagidde era ng'amateeka gonna bwe gali omuddu wange Musa ge yabalagira.

9. Naye ne batawulira: Manase n'abasendasenda okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yazikiriza mu maaso g'abaana ba Isiraeri.

10. Awo Mukama n'ayogerera mu baddu be bannabbi nti

11. Kubanga Manase kabaka wa Yuda akoze eby'emizizo bino era akoze obubi okusinga byonna Abamoli bye baakola abaamusooka, era ayonoonyesezza ne Yuda n'ebifaananyi bye:

12. Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera nti Laba, ndeeta ku Yerusaalemi ne Yuda obubi obwenkana awo, buli anaabuwuliranga n'okwamirira amatu ge gombi ne gaamirira.

13. Era ndireega ku Yerusaalemi omugwa ogw'e Samaliya n'ejjinja erigera ery'ennyumba ya Akabu: era ndisangula Yerusaalemi ng'omuntu bw'asangula essowaani, ng'agisangula era ng'agivunika.

14. Era ndisuula ekitundu ekifisseewo eky'obusika bwange ne mbagabula mu mukono gw'abalabe baabwe; kale balifuuka muyiggo era munyago eri abalabe baabwe bonna;

15. kubanga bakoze ebiri mu maaso gange ebibi ne bansunguwaza okuva ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviira mu Misiri ne leero.

16. Era nate Manase n'ayiwa omusaayi ogutaliiko musango, mungi nnyo okutuusa lwe yajjuza Yerusaalemi eruuyi n'eruuyi; obutasaako kwonoona kwe kwe yayonoonyesa Yuda ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.

17. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase ne byonna bye yakola n'okwonoona kwe kwe yayonoona tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?

18. Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu lusuku olw'oku nnyumba ye ye, mu lusuku lwa Uzza: Amoni mutabani we n'afuga mu kifo kye.

19. Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow'e Yotuba.

20. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakola:

21. N'atambulira mu kkubo lyonna kitaawe lye yatambuliramu n'aweereza ebifaananyi kitaawe bye yaweereza n'abisinza:

22. n'ava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe n'atatambulira mu kkubo lya Mukama.

23. Abaddu ba Amoni ne bamwekobaana ne battira kabaka mu nnyumba ye ye.

24. Naye abantu ab'omu nsi ne batta abo bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.

25. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amoni bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?

26. N'aziikibwa mu ntaana ye mu lusuku lwa Uzza: Yosiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.

About 2 Bassekabaka Chapter 21

Read 2 Bassekabaka Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Bassekabaka
Chapter: 21
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Bassekabaka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Bassekabaka Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Bassekabaka Chapter 21?

2 Bassekabaka Chapter 21 is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Bassekabaka Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-bassekabaka

  1. 2 Bassekabaka Chapter 18
  2. 2 Bassekabaka Chapter 10
  3. 2 Bassekabaka Chapter 7
  4. 2 Bassekabaka Chapter 17
  5. 2 Bassekabaka Chapter 25
  6. 2 Bassekabaka Chapter 23
  7. 2 Bassekabaka Chapter 22

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Zabbuli Chapter 100
  2. Yeremiya Chapter 31
  3. Yobu Chapter 35
  4. Zabbuli Chapter 51
  5. Isaaya Chapter 62
  6. Yeremiya Chapter 39
  7. Okuva Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Ekyamateeka Chapter 27
  2. Okubikkulirwa Chapter 12
  3. Zeffaniya Chapter 3
  4. 1 Ebyomumirembe Chapter 6
  5. Olubereberye Chapter 32
  6. Okubikkulirwa Chapter 3
  7. Koseya Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *