Read Yobu Chapter 3 Online
Read Yobu Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 3
Essuula 3
1. Awo Yobu n'alyoka ayasama akamwa n'akolimira olunaku lwe:
2. Yobu n'addamu n'ayogera nti
3. Olunaku luzikirire kwe nnazaalirwa, N'ekiro ekyayogera nti Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto.
4. Olunaku olwo lube ekizikiza; Katonda aleme okulutunuulira ng'ayima waggulu, So n'omusana guleme okulwakira.
5. Ekizikiza n'ekisiikirize eky'okufa biruyite olw'abyo; Ekire kirutuuleko: Byonna ebiddugaza obudde birutiise.
6. Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikinyage: So luleme okusanyukira mu nnaku ez'omu mwaka; Luleme okutuuka mu muwendo gw'emyezi.
7. Laba, ekiro ekyo kibe kigumba; Luleme okujjirwa eddoboozi ery'essanyu.
8. Abo balukolimire abakolimira obudde, Abeeteeseteese okusaggula goonya.
9. Emmunyeenye ez'ekiro kyalwo zibeeko ekizikiza: Lunoonye omusana, naye lugubulwe; So terutunuulira bikowe bya nkya:
10. Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange. So terwakisa maaso gange obuyinike.
11. Kiki ekyandobera okufa okuva mu lubuto? Kiki ekyandobera okuta obulamu bwe nnava mu byenda?
12. Amaviivi ganzikiririza ki? Oba amabeere, okugayonka?
13. Kubanga kaakano nandigalamidde ne nsirika; Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde:
14. Wamu ne bassekabaka n'abakungu b'ensi, Abeezimbira mu matongo;
15. Oba wamu n'abalangira abaalina ezaabu, Abajjuzanga ennyumba zaabwe effeeza:
16. Oba ng'omwana omusowole akwekebwa sandibaddewo; Ng'abaana abawere abatalabanga ku musana n'akatono.
17. Eyo ababi bakoma okuteganya; Era eyo abakoowu gye bawummulira.
18. Eyo abasibe gye bessiza awamu; Tebawulira ddoboozi lya mukoza.
19. Omuto n'omukulu bali eyo; N'omuddu aba wa ddembe eri mukama we.
20. Alaba obuyinike aweerwa ki omusana? N'obulamu abuweerwa ki oyo alumiddwa omwoyo;
21. Abeegomba okufa, naye ne kutajja; Ne bakusima okusinga obugagga obukwekeddwa;
22. Abasanyuka ennyo nnyini, Ne bajaguza, bwe bayinza okulaba entaana?
23. Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana, Era Katonda gw'akomedde olukomera?
24. Kubanga okusinda kwange kujja nga sinnalya, N'okuwuluguma kwange kufukibwa ng'amazzi.
25. Kubanga kye ntidde kinjijako, N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi.
26. Sessa so sitereera so siwummula; Naye ennaku zijja.
About Yobu Chapter 3
Read Yobu Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 3
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 3?
Yobu Chapter 3 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 7
- Yobu Chapter 8
- Yobu Chapter 29
- Yobu Chapter 20
- Yobu Chapter 13
- Yobu Chapter 2
- Yobu Chapter 24