Read Yobu Chapter 1 Online
Read Yobu Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 1
Essuula 1
1. Waaliwo omusajja mu nsi Uzzi, erinnya lye Yobu; era omusajja oyo yatuukirira era nga wa mazima, era ng'atya Katonda ne yeewalanga obubi.
2. N'azaalirwa abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu.
3. Era ebintu bye byali endiga kasanvu n'eŋŋamira enkumi ssatu n'emigogo gy'ente ebikumi bitaano n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano n'abaddu bangi nnyo nnyini; omusajja oyo n'aba mukulu okusinga abaana bonna ab'ebuvanjuba.
4. Batabani be ne bagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli muntu ku lunaku lwe; ne batumanga ne bayitanga bannyinaabwe abasatu okulya n'okunywa nabo.
5. Awo olwatuuka ennaku z'embaga yaabwe bwe zaayitawo, Yobu n'atumanga n'abatukuzanga n'agolokokanga enkya mu makya, n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng'omuwendo gwabwe bonna bwe gwali: kubanga Yobu yayogera nti Mpozzi batabani bange boonoonye, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe. Bw'atyo Yobu bwe yakolanga olutata.
6. Awo olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo.
7. Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Awo, Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo eruuyi n'eruuyi.
8. Mukama n’agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi:
9. Awo Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Yobu atiira bwereere Katonda?
10. Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n'ennyumba ye ne byonna by'alina, enjuyi zonna? owadde omukisa omulimu gw'engalo ze, n'ebintu bye byaze mu nsi:
11. Naye kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by'alina, kale alikwegaanira mu maaso go.
12. Mukama n'agamba Setaani nti Laba, byonna by'alina biri mu mukono gwo; kyokka ku ye yennyini togolola mukono gwo, Awo Setaani n'ava awali Mukama.
13. Awo olunaku lwali lumu batabani be ne bawala be bwe, baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
14. omubaka n'ajja, eri Yobu n'ayogera nti Ente zibadde nga zirima, n'endogoyi nga ziziriraanye nga zirya;
15. Abaseba ne bazigwako ne bazitwala; weewaawo, basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira.
16. Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, era gwokezza endiga n'abaddu ne gubazikiriza; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira.
17. Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Abakaludaaya beefudde ebibiina bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira, era bazitutte, weewaawo, era basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira:
18. Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Batabani bo ne bawala bo baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu:
19. kale, laba, embuyaga nnyingi ne zijja nga ziva mu ddungu, ne zikuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'egwa ku balenzi, era bafudde; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira:
20. Awo Yobu n'agolokoka n'ayuza omunagiro gwe n'amwa omutwe n'avuunama ku ttaka n'asinza;
21. n'ayogera nti Nava mu lubuto lwa mmange nga ndi mwereere, era ndiddayo nga ndi mwereere: Mukama ye yawa, era Mukama ye aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe.
22. Mu ebyo byonna Yobu teyayonoonanga, so teyavuma Katonda busirusiru.
About Yobu Chapter 1
Read Yobu Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 1
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 1?
Yobu Chapter 1 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 13
- Yobu Chapter 21
- Yobu Chapter 34
- Yobu Chapter 14
- Yobu Chapter 2
- Yobu Chapter 25
- Yobu Chapter 42