Yobu Chapter 39

For English

Read Yobu Chapter 39 Online

Read Yobu Chapter 39 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 39

Essuula 39

1. Omanyi ebiro embulabuzi ez'oku njazi mwe zizaalira? Oba oyinza okutegeera empeewo bwe ziba n'amawako?

2. Oyinza okubala emyezi gye zimala? Oba omanyi ebiro mwe zizaalira?

3. Zikutama, zizaala abaana baazo, Zeggyamu obubalagaze bwazo.

4. Abaana baazo bagejja, bakulira ebweru ku ttale; Bafuluma ne batadda.

5. Ani eyata entulege okuba ey'eddembe? Oba ani eyasumulula enkoba ez'entulege?

6. Nafuula ensiko okuba ennyumba yaayo, N'ensi ey'omunnyo okuba ekifo w'ebeera.

7. Enyooma oluyoogaano olw’omu kibuga, So tewulira kulekaana kwa mugobi.

8. Ensozi bwe zenkana obugazi lye ddundiro lyayo, Era enoonya buli kintu ekibisi.

9. Embogo enekkirizanga okukuweereza? Oba eneebeeranga awali ekisibo kyo?

10. Oyinza okusiba embogo n'olukoba lwayo ku kibibi? Oba eneerimanga ebiwonvu ng'ekuvaako ennyuma?

11. Onoogyesiganga kubanga amaanyi gaayo mangi? Oba onoogirekeranga omulimu gwo?

12. Onoogyesiganga okukomyawo ewuwo ensigo zo, N'okukuŋŋaanyanga eŋŋaano ey'omu gguuliro lyo?

13. Ekiwaawaatiro kya maaya kisanyuka; Naye ebiwaawaatiro bye n'ebyoya birina ekisa?

14. Kubanga aleka amagi ge ku ttaka, N'egabugumya mu musenyu,

15. Ne yeerabira ng'ekigere kiyinza okugabetenta, Oba ensolo ey'omu nsiko eyinza okugalinnyirira.

16. Akakanyalira abaana be ng'abatali babe: Newakubadde ng'ateganira bwereere talina kutya;

17. Kubanga Katonda yamuggyako amagezi, So tamuwadde kutegeera.

18. Bw'aba nga yeegulumizizza, Anyooma embalaasi n'oyo agyebagala.

19. Wawa embalaasi amaanyi gaayo? Wayambaza obulago bwayo n'olugiŋŋirima olukankana?

20. Wagibuusa ng'enzige? Ekitiibwa ky'okufugula kwayo kya ntiisa.

21. Etakulira mu kiwonvu, n'esanyukira amaanyi gaayo: Efuluma okusisinkana n'abasajja abakutte ebyokulwanyisa.

22. Esekerera okutya so tekeŋŋentererwa; so tedda nnyuma awali ekitala.

23. Omufuko guwulungutira ku yo, Effumu erimasamasa n'akasaale.

24. Emira ettaka n'obusungu n'ekiruyi; So tekkiriza nga lye ddoboozi ery'ekkondeere.

25. Ekkondeere buli lwe livuga, n'eyogera nti Bw'otyo N'ekonga olutalo nga lukyali wala, Okubwatuka kw'abaami n'okuleekaana.

26. Magga atumbiira na magezi go, N'abamba abiwaawaatiro bye eri obukiika obwa ddyo?

27. Empungu erinnya na kiragiro kyo, N'ekola ekisu kyayo waggulu?

28. Ebeera ku jjinja, n'ennyumba yaayo eri okwo, Ku linnyo ly'ejjinja n'ekifo eky'amaanyi.

29. Erengera omuyiggo ng'eyima okwo; Amaaso gaayo gagulaba nga guli wala.

30. Era n'abaana baayo banuuna omusaayi: Era awaba emirambo, gy'ebeera eyo.

About Yobu Chapter 39

Read Yobu Chapter 39 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 39
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 39 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 39?

Yobu Chapter 39 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 39 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 5
  2. Yobu Chapter 21
  3. Yobu Chapter 35
  4. Yobu Chapter 42
  5. Yobu Chapter 11
  6. Yobu Chapter 12
  7. Yobu Chapter 17

Related Chapters & Readings

  1. Okuva Chapter 4
  2. Omubuulizi Chapter 7
  3. Okuva Chapter 3
  4. Zabbuli Chapter 97
  5. Zabbuli Chapter 31
  6. Okukungubaga Chapter 2
  7. Yakobo Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *