Read Yobu Chapter 13 Online
Read Yobu Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 13
Essuula 13
1. Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, Okutu kwange kwabiwulira ne kubitegeera.
2. Bye mumanyi era nange mbimanyi: Mmwe temunsinga.
3. Mazima naayogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Era njagala okuteesa ne Katonda.
4. Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abataliiko kye bagasa.
5. Singa musirikidde ddala! Lwe mwandibadde n'amagezi.
6. Muwulire nno ensonga yange, Mutege okutu eri okuwoza kw'emimwa gyange.
7. Munawolereza Katonda nga mwogera ebitali bya songa, Era nga muleeta eby’obulimba?
8. Munaamutya kitiibwa? Munaayomberera Katonda?
9. Kirungi ye okubakebera? Oba ng'omuntu bw'alimba munne munaamulimba ye?
10. Talirema kubanenya, Bwe munaatya ekitiibwa mu kyama.
11. Obukulu bwe obusinga tebulibatiisa N'entiisa ye teribagwako?
12. Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, Enkomera zammwe nkomera za ttaka.
13. Musirike mundeke njogere, Ebinaayagala okujja binjijire.
14. Kiki ekinaaba kintwaza omubiri gwange mu mannyo gange, Ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange?
15. Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga: Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge.
16. Era ekyo kye kinaabanga obulokozi bwange; Kubanga omusajja atatya Katonda taatuukenga mu maaso ge.
17. Muwulire nnyo ebigambo byange, N'ebyo bye njatula bibe mu matu gammwe.
18. Laba nno, ndiraanyizza ensonga yange; Mmanyi nga ndi mutuukirivu.
19. Ani anaawakana nange? Kubanga kaakano naasirika ne nta omukka.
20. Kyokka tonkola bigambo bibiri, Kale ne sseekweka amaaso go:
21. Nziyaako omukono gwo gumbeere wala; So n'entiisa yo ereme okunkanga.
22. Kale koowoola ggwe nange naayitaba; Oba leka njogere naawe onziremu.
23. Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange byenkana wa obungi? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange.
24. Okisiza ki amaaso go, N'ompita omulabe wo?
25. Onoococca essubi eritwalibwa empewo? Era onooyigganya ebisasiro ebikaze?
26. Kubanga ompandiikira ebigambo eby'ekkabyo, Era onsisa obutali butuukirivu obw'omu buto bwange:
27. N'ebigere byange obisiba mu nvuba, era olamba amakubo gange gonna; Okoloboza olukoloboze okwetooloola ebigere byange:
28. Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivundu ekiggwaawo, Ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.
About Yobu Chapter 13
Read Yobu Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 13
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 13 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 13?
Yobu Chapter 13 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 13 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 10
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 21
- Yobu Chapter 26
- Yobu Chapter 6
- Yobu Chapter 38
- Yobu Chapter 18
- Yobu Chapter 12
- Yobu Chapter 39