Read Yobu Chapter 11 Online
Read Yobu Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 11
Essuula 11
1. Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti
2. Olufulube lw'ebigambo terugwana kuluddamu? N'omuntu omwogeziyogezi agwana okumuwa obutuukirivu?
3. Okwenyumiriza kwo kwandisirisizza abantu? Era bw'oduula, tewaabeewo anaakukwasa ensonyi?
4. Kubanga oyogera nti Okuyigiriza kwange kulongoofu, Nange ndi mulungi mu maaso go.
5. Naye Katonda singa ayogedde, N'ayasamya emimwa gye eri ggwe:
6. Era singa akwolesezza ebyama eby'amagezi, Nga ga ngeri nnyingi mu kukola okw'amaanyi! Kale tegeera Katonda ng'akutaatira so si ng'obutali butuukirivu bwo bwe bwasaanira.
7. Oyinza okulaba Katonda olw'okunoonya? Oyinza okulaba Omuyinza w'ebintu byonna n'omumalayo?
8. Kyenkana eggulu obugulumivu; oyinza kukola ki? Kisinga amagombe okugenda wansi; oyinza kumanya ki?
9. Ekigero kyakwo kisinga ensi obuwanvu, Era kisinga ennyanja obugazi:
10. Bw'anaayitamu n'asiba abantu, N'abayita okujja okusalirwa omusango, kale ani ayinza okumuziyiza?
11. Kubanga amanyi abantu abataliiko kye bagasa: Era alaba n'obutali butuukirivu newakubadde nga tabulowooza.
12. Naye omuntu ataliiko ky'agasa talina kutegeera, Weewaawo, abantu bazaalibwa ng'omwana w'entulege.
13. Bw'onooteekateekanga obulungi omutima gwo, N'ogololanga emikono gyo eri ye;
14. Obujeemu oba nga buli mu mukono gwo, buteekenga wala, So n'obutali butuukirivu bulemenga okubeera mu weema zo;
15. Kale toolemenga kuyimusa maaso go awatali bbala; Weewaawo, onootereeranga so tootyenga:
16. Kubanga oneerabiranga ennaku ze walaba; Onoozijjukiranga ng’amazzi agayiseewo:
17. N'obulamu bwo bunaatangalanga okusinga ettuntu; Newakubadde nga waliwo ekizikiza, bunaabanga ng’obw'enkya.
18. Naawe onoobanga mirembe, kubanga essuubi weeriri; Weewaawo, onoomagamaganga n'owummula mirembe.
19. Era onoogalamiranga so tewaabenga anaakutiisanga; Weewaawo, bangi abanaakwegayiriranga.
20. Naye amaaso g'ababi ganaggwangawo, N’obuddukiro bunaababulanga, N'essuubi lyabwe linaabanga kuta mukka.
About Yobu Chapter 11
Read Yobu Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 11
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 11 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 11?
Yobu Chapter 11 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 11 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 27
- Yobu Chapter 40
- Yobu Chapter 23
- Yobu Chapter 19
- Yobu Chapter 22
- Yobu Chapter 39
- Yobu Chapter 21