1 Timoseewo Chapter 4

For English

Read 1 Timoseewo Chapter 4 Online

Read 1 Timoseewo Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Timoseewo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Timoseewo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Timoseewo 4

Essuula 4

1. Naye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n'okuyigiriza kwa basetaani,

2. olw'obunnanfuusi bw'abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe nga n'ekyuma ekyokya,

3. nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima.

4. Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, so siwali kya kusuula bwe kitoolebwa n'okwebaza:

5. kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n'okusaba.

6. Bw'onojjukizanga ab'oluganda ebyo, onoobaaga muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okukkiriza n'eby'okuyigiriza okulungi kwe wagoberera:

7. naye enfumo ezitali za ddiini ez'obusirusiru z'oba olekanga. Weemanyiizenga okutya Katonda:

8. kubanga okwemanyiiza kw'omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa kaakano n'obw'obugenda okujja.

9. Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okukkirizibwa kwonna.

10. Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, okusinga w'abakkiriza,

11. Lagiranga ebyo obiyigirizenga,

12. Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kya kulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga: mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu.

13. Okutuusa lwe ndijja, nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okuyigirizanga.

14. Tolekanga kirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa olw'obunnabbi awamu n'okuteekebwako emikono gy'abakadde.

15. Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna.

16. Weekuumenga wekka n'okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola wekka era n'abo abakuwulira.

About 1 Timoseewo Chapter 4

Read 1 Timoseewo Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Timoseewo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Timoseewo
Chapter: 4
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Timoseewo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Timoseewo Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Timoseewo Chapter 4?

1 Timoseewo Chapter 4 is part of the Book of 1 Timoseewo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Timoseewo Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-timoseewo

  1. 1 Timoseewo Chapter 2
  2. 1 Timoseewo Chapter 6
  3. 1 Timoseewo Chapter 3
  4. 1 Timoseewo Chapter 1
  5. 1 Timoseewo Chapter 5

Explore More from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 10
  2. 1 Peetero Chapter 4
  3. Matayo Chapter 6
  4. Yokaana Chapter 13
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 5
  7. Abaruumi Chapter 15

Related Chapters & Readings

  1. 1 Ebyomumirembe Chapter 20
  2. Ezekyeri Chapter 36
  3. Ebikolwa Chapter 21
  4. Okuva Chapter 4
  5. Zabbuli Chapter 85
  6. Olubereberye Chapter 1
  7. Ebyabaleevi Chapter 10
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *