Yobu Chapter 28

For English

Read Yobu Chapter 28 Online

Read Yobu Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 28

Essuula 28

1. Mazima waliwo gye basimira ffeeza, N'ekifo kya zaabu gye balongoosa.

2. Ekyuma kiggibwa mu ttaka, N'ekikomo bakisaanuusa okukiggya mu jjinja.

3. Abantu babibira ekizikiza, Ne bakenneenya okutuuka ku nsalo ekomererayo, Amayinja ag'ekizikiza ekikutte n'ag'ekisiikirize eky'okufa.

4. Basima obunnya obuli ewala n'abantu we batuula; Beerabirwa ekigere ekiyitawo: Balengejjera wala n'abantu, bawuubibwawuubibwa eruuyi n'eruuyi.

5. Ensi ye evaamu emmere: Era wansi evuunikibwa ng'ekivuunikibwa n'omuliro.

6. Amayinja gaayo kifo kya safiro, Era erina enfuufu eya zaabu.

7. Ekkubo eryo tewali nnyonyi eyigga erimanyi, So n'amaaso ga kamunyi tegalirabanga.

8. Ensolo ezaamalala teziririnnyangamu, So n'empologoma enkambwe teriyitangamu.

9. Agolola omukono gwe ku jjinja ery'embaalebaale; Avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.

10. Atema ensalosalo mu njazi; N'amaaso ge galaba buli kintu eky'omuwendo omungi.

11. Asiba emigga gireme okukulukuta; N'ekigambo ekyakisibwa akireeta awalaba.

12. Naye amagezi ganaalabikanga wa? N'ekifo eky'okutegeera we kubeera kiri ludda wa?

13. Abantu tebamanyi muwendo gwago; So tegalabika mu nsi ey'abalamu.

14. Obuziba bwogera nti Tegali mu nze: N'ennyanja eyogera nti Tegali we ndi.

15. Tegafunika lwa zaabu, So ne ffeeza teripimibwa okugagula.

16. Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu eya Ofiri, Ne onuku ey'omuwendo omungi oba safiro.

17. Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana: So n'amakula aga zaabu ennungi tegaabenga buguzi bwago.

18. Tebaayogerenga ku kolali n'amayinja ag'endabirwamu: Weewaawo, omuwendo ogw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.

19. Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga, So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi.

20. Kale amagezi gava wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa?

21. Kubanga gakwekebwa amaaso g'abalamu bonna, Era gakisibwa ennyonyi ez'omu bbanga.

22. Okuzikirira n'Okufa kwogera nti Twawulira ekigambo kyago n'amatu gaffe.

23. Katonda ategeera ekkubo lyago, Era ye amanyi ekifo kyago.

24. Kubanga atunuulira okutuuka ku nkomerero z'ensi, Era alaba ebiri wansi w'eggulu lyonna;

25. Okukolera empewo ekigera; Weewaawo, apima amazzi n'ekipima.

26. Bwe yateekera enkuba etteeka, N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka:

27. Awo n'alyoka agalaba n'agabuulira; Yaganyweza, weewaawo, n'agakenneenyeza ddala.

28. Era n'agamba abantu nti Laba, okutya Mukama okwo ge magezi; N'okuleka obubi kwe kutegeera.

About Yobu Chapter 28

Read Yobu Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 28
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 28 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 28?

Yobu Chapter 28 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 28 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 12
  2. Yobu Chapter 22
  3. Yobu Chapter 2
  4. Yobu Chapter 41
  5. Yobu Chapter 19
  6. Yobu Chapter 18
  7. Yobu Chapter 32

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 35
  2. Ebyabaleevi Chapter 2
  3. Engero Chapter 12
  4. Yeremiya Chapter 11
  5. 1 Abakkolinso Chapter 9
  6. Okubala Chapter 25
  7. Ekyabalamuzi Chapter 18
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *