2 Bassekabaka Chapter 12

For English

Read 2 Bassekabaka Chapter 12 Online

Read 2 Bassekabaka Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Bassekabaka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Bassekabaka 12

Essuula 12

1. Mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Yeeku Yekoyaasi n'atanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.

2. Yekoyaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku ze zonna Yekoyaada kabona ze yamuyigirizaamu.

3. Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyawaayo ssaddaaka ne bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu.

4. Awo Yekoyaasi n'agamba bakabona nti Effeeza zonna ez'ebintu ebitukuzibwa ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, eziyitaŋŋana, effeeza ez'abantu buli muntu z'awandiikirwa, n'effeeza zonna omuntu yenna ze yettula okuleeta mu nnyumba ya Mukama,

5. bakabona bazitwale ewaabwe, buli muntu ng'aziggya ku abo b'amanyi: kale baliziba ebituli by'ennyumba yonna yonna ekituli gye kinaalabikira.

6. Naye olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa kabaka Yekoyaasi bakabona nga tebannaziba bituli bya nnyumba.

7. Awo kabaka Yekoyaasi n'ayita Yekoyaada kabona ne bakabona abalala n'abagamba nti Kiki ekibalobera okuziba ebituli by'ennyumba? kale nno temweyongera kuggya ffeeza ku abo be mumanyi, naye mugisasule olw'ebituli by'ennyumba.

8. Awo bakabona ne bakkiriza obutaggya nate ffeeza ku bantu newakubadde okuziba ebituli by'ennyumba.

9. Naye Yekoyada kabona n'addira ebbweta n'awummula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n'agiteeka ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng'oyingira mu nnyumba ya Mukama: awo bakabona abaakuumanga oluggi ne bateeka omwo effeeza zonna ezaaleetebwanga mu nnyumba ya Mukama.

10. Awo olwatuuka bwe baalaba nga mu bbweta mulimu effeeza nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bambuka, ne batereka effeeza eyasangibwa mu nnyumba ya Mukama mu nsawo, ne bazibala.

11. Ne bawa effeeza ezaagerebwa mu mikono gy'abo abaakola emirimu abaalabirira ennyumba ya Mukama: ne baziwaayo eri ababazzi n'abazimbi abaakola emirimu gy'ennyumba ya Mukama,

12. n'eri abazimbi b'amayinja n’abatema amayinja n'olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuziba ebituli by'ennyumba ya Mukama, n'olwa byonna ebyajjirira ennyumba okugiddaabiriza.

13. Naye ebikompe ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'amakondeere n'ebintu byonna ebya zaabu oba ebintu ebya ffeeza tebyakolerwa nnyumba ya Mukama n'effeeza ezaaletebwa mu nnyumba ya Mukama:

14. kubanga ezo ne baziwa abo abaakola emirimu, era ne baziddaabirizisa ennyumba ya Mukama.

15. Era tebaabalirira muwendo eri abasajja be baawa effeeza mu mukono gwabwe okubawa abo abaakola emirimu: kubanga baakolanga n'obwesigwa.

16. Effeeza ez'ebiweebwayo olw'omusango n'effeeza ez'ebiweebwayo olw'okwonoona tezaaleetebwa mu nnyumba ya Mukama: zaabanga za bakabona.

17. Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ayambuka n'alwana ne Gaasi n'akimenya: Kazayeeri n'asimba amaaso ge okwambuka e Yerusaalemi.

18. Awo Yekoyaasi kabaka wa Yuda n'addira ebintu byonna ebyatukuzibwa, Yekosafaati ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda bye baawonga, n'ebintu bye ye ebyatukuzibwa n'ezaabu yonna eyalabika mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza Kazayeeri kabaka w'e Busuuli: n'ava ku Yerusaalemi.

19. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?

20. Abaddu be ne bagolokoka ne beekobaana ne battira Yowaasi awali ennyumba ey'e Miiro ku kkubo eriserengeta e Sirra.

21. Kubanga Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, abaddu be baamufumita n'afa; ne bamuziikira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.

About 2 Bassekabaka Chapter 12

Read 2 Bassekabaka Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Bassekabaka
Chapter: 12
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Bassekabaka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Bassekabaka Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Bassekabaka Chapter 12?

2 Bassekabaka Chapter 12 is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Bassekabaka Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-bassekabaka

  1. 2 Bassekabaka Chapter 10
  2. 2 Bassekabaka Chapter 18
  3. 2 Bassekabaka Chapter 7
  4. 2 Bassekabaka Chapter 5
  5. 2 Bassekabaka Chapter 17
  6. 2 Bassekabaka Chapter 23
  7. 2 Bassekabaka Chapter 14

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Yeremiya Chapter 15
  2. Amosi Chapter 1
  3. Isaaya Chapter 9
  4. 1 Ebyomumirembe Chapter 10
  5. Zabbuli Chapter 14
  6. 1 Samwiri Chapter 11
  7. Mikka Chapter 6

Related Chapters & Readings

  1. Makko Chapter 7
  2. Olubereberye Chapter 27
  3. Nekkemiya Chapter 3
  4. Isaaya Chapter 64
  5. Isaaya Chapter 21
  6. Zabbuli Chapter 4
  7. Isaaya Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *