Read Yobu Chapter 5 Online
Read Yobu Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 5
Essuula 5
1. Koowoola nno; waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira?
2. Kubanga okweralirira kutta omusirusiru, Nobuggya butta atalina magezi.
3. Nalaba omusirusiru ng'asimba emmizi: Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu.
4. Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, So tewali wa kubawonya.
5. Omwaka gwabwe omuyala agulya, N'aguggya ne mu maggwa, N'omutego guwankirawankira ebintu byabwe.
6. Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nfuufu, So n'obuyinike tebuva mu ttaka;
7. Naye abantu bazaalirwa obuyinike, Ng'ensasi bwe zibuuka waggulu.
8. Naye nze, njagala okunoonya Katonda, Era njagala okulekera Katonda ensonga yange:
9. Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Eby'ekitalo ebitabalika:
10. Atonnyesa enkuba ku nsi, N'asindika amazzi ku nnimiro:
11. Awo n'agulumiza abo abatoowazibwa; N'abo abali mu nnaku ne basitulibwa ne baba mirembe.
12. Atta enkwe ez'abagerengetanya, Emikono gyabwe ne gitayinza kutuukiriza bye batandise.
13. Akwasa abagezi olukwe lwabwe bo: N'okuteesa kw'ab'ekyejo kumenyekera ddala.
14. Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro.
15. Naye alokola mu kitala eky'akamwa kaabwe, Alokola eyeetaaga mu mukono gw'ow'amaanyi.
16. Kale omwavu n'aba n'okusuubira, Obutali butuukirivu ne buziba akamwa kaabwo.
17. Laba aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kubuulirira kw'Omuyinza w'ebitu byonna.
18. Kubanga ye alumya era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze z'eziwonya.
19. Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, mu musanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako.
20. Mu njala anaakununulanga obutafa; Ne mu ntalo anaakuwonyanga mu maanyi g'ekitala.
21. Onookwekebwanga awali okubambula kw'olulimi; So tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga.
22. Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; So tootyenga nsolo za ku nsi.
23. Kubanga onoolagaananga endagaano n'amayinja ag'omu ttale; N'ensolo ez'omu nsiko zinaabanga n'emirembe gy'oli.
24. Era onoomanyanga ng'eweema yo eri mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo n'otobulwa kintu.
25. Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo linaabanga kkulu. N'enda yo ng'omuddo ogw'ettale.
26. Olituuka mu ntaana yo ng'owezezza emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kijja mu ntuuko zaakyo.
27. Laba, ekyo twakikenneenya, bwe kiri bwe kityo. Kiwulire okimanye olyoke obeere bulungi.
About Yobu Chapter 5
Read Yobu Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 5
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 5?
Yobu Chapter 5 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 6
- Yobu Chapter 11
- Yobu Chapter 7
- Yobu Chapter 9
- Yobu Chapter 41
- Yobu Chapter 33
- Yobu Chapter 31