Luusi Chapter 4

For English

Read Luusi Chapter 4 Online

Read Luusi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Luusi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Luusi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Luusi 4

Essuula 4

1. Awo Bowaazi n'ayambuka eri omulyango, n'atuula eyo: era, laba, muganda we oyo Bowaazi gw'ayogeddeko n'ayitawo; n'amugamba oyo nti Owange, gundi! kyama otuule wano. N'akyama n'atuula.

2. N'atwala abasajja kkumi ku bakadde b'ekibuga n'ayogera nti Mutuule wano. Ne batuula.

3. N'agamba muganda w'omukazi nti Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki:

4. era mbadde ndowooza okukutegeeza nga njogera nti Kigulire mu maaso g'abo abatuula wano, ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Bw'oyagala okukinunula, kinunule: naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye: kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira. N'ayogera nti Ndikinunula.

5. Awo Bowaazi n'ayogera nti Bw'oligula ennimiro mu mukono gwa Nawomi, kirikugwanira ne Luusi Omumowaabu, mukazi w'oyo eyafa, okukuguza, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa.

6. Muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze: ggwe weetwalire okununula kwange okwo: kubanga nze siyinza kukinunula.

7. Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne: n'okwo kwabanga bujulirwa mu Isiraeri.

8. Awo muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Kyegulire. N'anaanula engatto ye.

9. Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi.

10. Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa, erinnya ly'oyo eyafa lireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye: mmwe muli bajulirwa leero.

11. Awo abantu bonna abaali mu mulyango n'abakadde ne boogera nti Ffe tuli bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri: naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu:

12. n'ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Pereezi; Tamali gwe yazaalira Yuda, olw'ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuvubuka.

13. Awo Bowaazi n'atwala Luusi, naye n'amufumbirwa; n'ayingira gy'ali, Mukama n'amuwa olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi.

14. Abakazi ne bagamba Nawomi nti Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri.

15. Era alibeera gy'oli akomyawo obulamu era aliisa obukadde bwo: kubanga muka mwana wo akwagala, akusanyusa okusinga abaana ab'obulenzi omusanvu, abaamuzaaliddwa.

16. Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amuwambaatira mu kifuba kye, n'aba omulezi we.

17. Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi: oyo ye kitaawe wa Yese, kitaawe wa Dawudi.

18. Era kuno kwe kuzaala kwa Pereezi: Pereezi yazaala Kezulooni;

19. Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu;

20. Amminadaabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumooni;

21. Salumooni n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi;

22. Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi.

About Luusi Chapter 4

Read Luusi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Luusi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Luusi
Chapter: 4
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Luusi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Luusi Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Luusi Chapter 4?

Luusi Chapter 4 is part of the Book of Luusi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Luusi Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Luusi

  1. Luusi Chapter 1
  2. Luusi Chapter 3
  3. Luusi Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Danyeri Chapter 5
  2. Yoswa Chapter 19
  3. Zabbuli Chapter 1
  4. Isaaya Chapter 28
  5. Ekyabalamuzi Chapter 10
  6. Yoswa Chapter 13
  7. Abafiripi Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *