Read Yobu Chapter 29 Online
Read Yobu Chapter 29 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 29
Essuula 29
1. Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti
2. Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita, Nga bwe nnali mu nnaku Katonda ze yandabirirangamu;
3. Ettabaaza ye lwe yayakiranga omutwe gwange, N'omusana gwe gwe gwantambuzanga okuyita mu kizikiza;
4. Nga bwe nnali ennaku zange nga zengedde, Ekyama kya Katonda bwe kyabanga ku weema yange;
5. Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange, N'abaana bange nga bakyanneetoolodde;
6. Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'omuzigo, N'olwazi bwe lwanfuukira emigga egy'amafuta!
7. Bwe nnafulumanga ne ŋŋenda eri omulyango mu kibuga, Bwe nnategekanga entebe yange mu luguudo,
8. Abalenzi bandabanga ne beekweka, Abakadde ne bayimukanga ne bayimirira;
9. Abakungu ne balekanga okwogera, Ne bateeka omukono gwabwe kamwa kaabwe;
10. Eddoboozi ery'abakulu ne lisirika, Olulimi lwabwe ne lwegatta n'ekibuno ky'akamwa kaabwe.
11. Kubanga okutu bwe kwampuliranga ne kulyoka kunneebaza; Era eriiso bwe lyandabanga ne liba mujulirwa wange:
12. Kubanga nawonyanga omwavu eyakaaba, Era n'atalina kitaawe eyabulwa ow'okumuyamba.
13. Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala okuzikirira: Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu.
14. Nayambala obutuukirivu ne bumbikkako: Obutalya nsonga bwange ne buba ng'omunagiro n'engule.
15. Nabanga amaaso eri omuzibe, Era nabanga ebigere eri awenyera.
16. Nabanga kitaabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya.
17. Era namenyanga atali mutuukirivu oluba, Ne nsika omuyiggo ne nguggya mu mannyo ge,
18. Kale ne njogera nti Ndifiira mu kisu kyange, Era naayongeranga ennaku zange ng'omusenyu:
19. Emmizi gyange giranze eri amazzi, N'omusulo gubeera ku ttabi lyange ne gukeesa obudde:
20. Ekitiibwa kyange kiggya gye ndi, N'omutego gwange guzzibbwa buggya mu mukono gwange.
21. Nze abantu bampulirizanga ne balinda, Ne basirikira okuteesa kwange.
22. Nga ndeese ebigambo bo ne batayogera nate; Okwogera kwange ne kubagwako.
23. Era bannindirira nga bwe balindirira enkuba; Era bayasama nnyo akamwa kaabwe ng'abayasamira enkuba eya ttoggo.
24. Bwe nnabasekeranga ne batakkiriza; N'omusana gw'amaaso gange tebaagusuula.
25. Neerobozanga ekkubo lyabwe ne ntuula ng'omukulu, Ne mbeera nga kabaka mu ggye, Ng'omuntu akubagiza abakungubaga.
About Yobu Chapter 29
Read Yobu Chapter 29 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 29
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 29 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 29?
Yobu Chapter 29 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 29 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 35
- Yobu Chapter 30
- Yobu Chapter 23
- Yobu Chapter 2
- Yobu Chapter 34
- Yobu Chapter 37
- Yobu Chapter 9