Read Yobu Chapter 40 Online
Read Yobu Chapter 40 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 40
Essuula 40
1. Era nate Mukama n'addamu Yobu n'ayogera nti
2. Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda akiwoze.
3. Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama n'ayogera nti
4. Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Nteeka omukono gwange ku kamwa kange.
5. Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu; Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate.
6. Awo Mukama n'addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
7. Weesibe nno ekimyu ng'omusajja: Naakubuuza, naawe onziremu.
8. N'okujjulula onojjulula omusango gwe nsala? Ggwe ononsalira nze omusango obeere n'obutuukirivu?
9. Oba olina omukono nga Katonda? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi erifaanana erirye?
10. Weeyonje nno n'okuwooma n'okutiibwa; Yambala ekitiibwa n'obukulu.
11. Fuka obusungu bwo okusukkiridde: Otunuulire buli muntu ow'amalala omujeeze.
12. Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira.
13. Bakise wamu mu nfuufu; Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa.
14. Kale nange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe Ng'omukono gwo gwe guyinza okukulokola.
15. Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe; Erya omuddo ng'ente.
16. Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo.
17. Yeesagga omukira ng'omuvule: Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu.
18. Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez'ebikomo; Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.
19. Ye ekulira amakubo ga Katonda: Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye.
20. Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya; Ensolo zonna ez'omu nsiko we zizannyira.
21. Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Mu bwekwekero obw'omu ndago ne mu bitosi.
22. Ebisiikirize by'emiti bigibikkako; Emyerebu egy'omu bugga gigyetooloola.
23. Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana: Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo.
24. Waliwo anaagikwata bw'eba ng'etunula, Oba anaawummula ennyindo zaayo n'ekyambika?
About Yobu Chapter 40
Read Yobu Chapter 40 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 40
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 40 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 40?
Yobu Chapter 40 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 40 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 1
- Yobu Chapter 14
- Yobu Chapter 16
- Yobu Chapter 27
- Yobu Chapter 34
- Yobu Chapter 35
- Yobu Chapter 38