Yobu Chapter 37

For English

Read Yobu Chapter 37 Online

Read Yobu Chapter 37 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 37

Essuula 37

1. Era n'ekyo kikankanya omutima gwange, Ne gunyeenyezebwa okuva mu kifo kyagwo.

2. Muwulire okuwuuma kw'eddoboozi lye, N'okududuma okuva mu kamwa ke.

3. Akusindika wansi w'eggulu lyonna, N'okumyansa kwe kubuna enkomerero z'ensi.

4. Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma; Abwatuka n'eddoboozi ery'obukulu bwe: So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.

5. Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozi lye; Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera.

6. Kubanga agamba omuzira nti Gwa ku nsi; Era bw'atyo bw'agamba oluwandaggirize, N'empandaggirize ez'enkuba ye ey'amaanyi.

7. Assa akabonero ku mukono gwa buli muntu; Abantu bonna be yatonda balyoke bakimanye.

8. Awo ensolo ne zigenda mu bwekwekero, Ne zibeera mu mpuku zaazo,

9. Mu kisenge eky'obukiika obwa ddyo mwe muva omuyaga: Empewo ne ziva mu bukiika obwa kkono.

10. Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira: N'amazzi bwe genkana obugazi ne gakwata.

11. Weewaawo, ajjuza ekire ekiziyivu amazzi; Abamba ekire eky'enjota ze:

12. Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n'eruuyi, Bikolenga byonna by'abiragira Kungulu ku nsi yonna okubeereka:

13. Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye, Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta.

14. Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby'ekitalo.

15. Omanyi Katonda bw'abikuutira, N'ayasa enjota ez'omu kire kye?

16. Omanyi okutereezebwa kw'ebire, Ebikolwa eby'ekitalo eby'oyo eyatuukirira mu kumanya?

17. Ebyambalo byo bwe bibuguma, Ensi ng'esirise olw'embuyaga ez'obukiika obwa ddyo?

18. Oyinza okubambira eggulu awamu naye, Amaanyi gaalyo genkana endabirwamu ensaanuuse?

19. Tuyigirize bye tuba tumugamba; Kubanga tetuyinza kuliraanya kwogera kwaffe olw'ekizikiza.

20. Anaabuulirwa nga njagala okwogera? Oba omuntu yandyagadde okumirwa?

21. Era kaakano abantu tebalaba musana ogumasamasa mu ggulu: Naye embuyaga ne ziyita ne ziryerula.

22. Mu bukiika obwa kkono mwe muva okuyakaayakana okuli nga zaabu: Katonda ayambadde ekitiibwa ekikanga.

23. Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza: Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya.

24. Abantu kyebava bamutya: tabassaako omwoyo abo bonna abalina emitima egy'amagezi.

About Yobu Chapter 37

Read Yobu Chapter 37 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 37
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 37 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 37?

Yobu Chapter 37 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 37 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 15
  2. Yobu Chapter 21
  3. Yobu Chapter 3
  4. Yobu Chapter 6
  5. Yobu Chapter 5
  6. Yobu Chapter 34
  7. Yobu Chapter 32

Related Chapters & Readings

  1. Engero Chapter 28
  2. Isaaya Chapter 41
  3. Yobu Chapter 17
  4. Zabbuli Chapter 105
  5. Makko Chapter 1
  6. Zabbuli Chapter 55
  7. Yobu Chapter 9
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *