Read Olubereberye Chapter 40 Online
Read Olubereberye Chapter 40 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 40
Essuula 40
1. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe kabaka w'e Misiri.
2. Falaawo n'asunguwalira abaami be bombi, omukulu w'abasenero, n'omukulu w'abafumbiro.
3. n'abasiba mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, mu kkomera, mu kifo Yusufu mwe yasibirwa.
4. Omukulu w'abambowa n'abateresa Yusufu, n'abaweereza: ne bamalayo ekiseera nga basibiddwa.
5. Ne baloota ekirooto bombi, buli muntu ekirooto kye mu kiro kimu, buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, abaasibibwa mu kkomera.
6. Yusufu n'ayingira gye baali enkya, n'abalaba, era, laba, baali banakuwadde.
7. N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, ng'ayogera nti Kiki ekinakuwazizza bwe kityo amaaso gammwe leero?
8. Ne bamugamba nti Tuloose ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo. Yusufu n'abagamba nti Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? mukimbuulire, mbeegayiridde.
9. Omusenero omukulu n'abuulira Yusufu ekirooto kye, n'amugamba nti Mu kirooto kyange, laba, omuzabbibu gubadde mu maaso gange;
10. ne ku muzabbibu kubaddeko amatabi asatu: ne guba ng'ogwanya, ne gusansula ebimuli; n'ebirimba byagwo ne bibala ezabbibu ennyengevu:
11. n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo.
12. Yusufu n'amugamba nti Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu ze nnaku essatu;
13. walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo n'akukomyawo mu bwami bwo: era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, ng'empisa bwe yali edda bwe wali omusenero we.
14. Naye onjijukiranga nze bw'oliraba ebirungi, ondage nze ekisa, nkwegayiridde, onjogerangako eri Falaawo, onziye mu nnyumba muno:
15. kubanga amazima nanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya: era ne kuno sikolanga kigambo ekyandibanteesezza mu kkomera.
16. Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu nti Nange mbadde mu kirooto kyange, era, laba, ebibbo ebisatu ebibaddemu emmere enjeru ne biba ku mutwe gwange:
17. ne mu kibbo ekya waggulu mubaddemu engeri zonna ez’emmere enjokye eza Falaawo; ennyonyi ne ziziriira mu kibbo ku mutwe gwange.
18. Yusufu n'addamu n'ayogera nti Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku essatu;
19. walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo okuva ku ggwe, era alikuwanika ku muti; n'ennyonyi zirirya ennyama yo okugiggya ku ggwe.
20. Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonna embaga; n'agulumiza omutwe gw'omusenero omukulu n'omutwe gw'omufumbiro omukulu mu baddu be.
21. N'akomyawo nate omusenero omukulu mu busenero bwe; n'awangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo:
22. naye n'awanika omufumbiro omukulu: nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu.
23. Naye omusenero omukulu n'atajjukira Yusufu, naye n'amwerabira.
About Olubereberye Chapter 40
Read Olubereberye Chapter 40 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 40
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 40 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 40?
Olubereberye Chapter 40 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 40 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 23
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 34
- Olubereberye Chapter 4
- Olubereberye Chapter 47
- Olubereberye Chapter 37
- Olubereberye Chapter 49
- Olubereberye Chapter 36
- Olubereberye Chapter 43