Read 1 Samwiri Chapter 27 Online
Read 1 Samwiri Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Samwiri 27
Essuula 27
1. Awo Dawudi n'ayogera mu mwoyo gwe nti Luliba lunaku lumu ne nzikirira olw'omukono gwa Sawulo: tewali kisinga bulungi gye ndi okudduka ne ntuuka mu nsi ey'Abafirisuuti; kale Sawulo aliggyayo omwoyo gye ndi, okunnoonya nate mu nsalo zonna eza Isiraeri: bwe ndiwona bwe ntyo mu mukono gwe.
2. Dawudi n'agolokoka n'agenda, ye n'abasajja olukaaga abaali naye, ne basenga Akisi mutabani wa Mawoki, kabaka w'e Gaasi.
3. Dawudi n'atuula ne Akisi e Gaasi, ye n'abasajja be, buli muntu n'ab'omu nnyumba, Dawudi ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, mukazi wa Nabali
4. Ne babuulira Sawulo nga Dawudi yaddukira e Gaasi: n'atamunoonya nate.
5. Awo Dawudi n'agamba Akisi nti Oba nga nno ŋŋanze mu maaso go, bampe ekifo mu mbuga emu mu byalo ntuule eyo: kubanga kiki ekinaaba kituuza omuddu wo mu kibuga kyennyini awamu naawe?
6. Awo Akisi n'amuwa Zikulagi ku lunaku olwo: Zikulagi kyekivudde kibeera ekya bakabaka ba Yuda na buli kati.
7. Awo omuwendo gw'ennaku Dawudi ze yamala mu nsi ey'Abafirisuuti gwali mwaka mulamba ko emyezi ena.
8. Dawudi n'abasajja be ne bambuka ne bakwekweta Abagesuli n'Abagiruzi n'Abamaleki: kubanga abo be baatuulanga mu nsi, abaabangamu edda, ng'ogenda e Ssuuli, okugenda mu nsi ey'e Misiri.
9. Dawudi n'atta ensi n'atawonya musajja newakubadde omukazi, n'anyaga endiga n'ente n'endogoyi n'eŋŋamira n'ebyambalo; n'akomawo n'ajja eri Akisi.
10. Awo Akisi n'ayogera nti Muva wa okukwekweta leero? Dawudi n'ayogera nti Ebukiika obwa ddyo obwa Yuda n'obukiika obwa ddyo obw'Abayerameeri n'obukiika obwa ddyo obw'Abakeeni.
11. Dawudi n'atawonya musajja newakubadde omukazi okubaleeta e Gaasi, ng'ayogera nti Baleme okutuloopa nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bwe yakola, era bwe yayisanga bw'atyo kasookedde atuula mu nsi ey'Abafirisuuti.
12. Awo Akisi n'akkiriza Dawudi n'ayogera nti Abantu be Isiraeri abatamiriddwa ddala; kyaliva abeera omuddu wange ennaku zonna.
About 1 Samwiri Chapter 27
Read 1 Samwiri Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Samwiri
Chapter: 27
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Samwiri Chapter 27 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Samwiri Chapter 27?
1 Samwiri Chapter 27 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 27 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1-samwiri
- 1 Samwiri Chapter 29
- 1 Samwiri Chapter 24
- 1 Samwiri Chapter 13
- 1 Samwiri Chapter 3
- 1 Samwiri Chapter 31
- 1 Samwiri Chapter 30
- 1 Samwiri Chapter 28
Explore More from Endagaano Enkadde
- 2 Samwiri Chapter 3
- Isaaya Chapter 7
- Yeremiya Chapter 10
- Zekkaliya Chapter 14
- Okubala Chapter 23
- Luusi Chapter 4
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 2