Ezekyeri Chapter 43

For English

Read Ezekyeri Chapter 43 Online

Read Ezekyeri Chapter 43 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezekyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ezekyeri 43

Essuula 43

1. Awo oluvannyuma n'antwala eri omulyango, omulyango ogwo ogutunuulira obuvanjuba:

2. kale, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri nga kijja nga kiva mu kkubo ery'ebuvanjuba: n'eddoboozi lye lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi: ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye.

3. Era kyali ng'embala ey'okwolesebwa kwe nnalaba, ng'okwolesebwa kwe nnalaba bwe nnajja okuzikiriza ekibuga: era okwolesebwa kwali ng'okwolesebwa kwe nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali: awo ne nvuunama amaaso gange.

4. Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu nnyumba nga kifuluma mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba.

5. Omwoyo ne gunsitula ne gundeeta mu luggya olw'omunda; kale, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.

6. Awo ne mpulira ayogera nange ng'ayima mu nnyumba; omusajja n'ayimirira ku mabbali gange.

7. Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, kino kye kifo eky'entebe yange, n'ekifo ebigere byange we birinnya, we nnaabeeranga wakati mu baana ba Isiraeri emirembe gyonna: so n'ennyumba ya Isiraeri terigwagwawaza nate erinnya lyange ettukuvu, bo newakubadde kabaka waabwe, olw'obwenzi bwabwe n'olw'emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu;

8. nga bateeka omulyango gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange, n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omufuubeeto gwange, ekisenge ekyereere n'ekyawula nze nabo; era bagwagwawazizza erinnya lyange ettukuvu n'emizizo gyabwe gye bakola: kyennava mbamalawo n'obusungu bwange.

9. Kaakano baggyeewo obwenzi bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe okuba wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.

10. Ggwe omwana w'omuntu, laga ennyumba ya Isiraeri ennyumba, bakwatirwe ensonyi obutali butuukirivu bwabwe: era bagere ekyokulabirako.

11. Awo bwe banaakwatirwa ensonyi ebyo byonna bye bakoze, bategeeze ennyumba bw'efaanana n'engeri yaayo n'awafulumirwa n'awayingirirwa n'embala zaayo zonna n'ebiragiro byayo byonna n'embala zaayo zonna n'amateeka gaayo gonna, ogiwandiike bo nga balaba: balyoke bagikwate yonna: nga bw'efaanana n'ebiragiro byayo byonna, babikolenga.

12. Lino lye tteeka ery'ennyumba: ku ntikko y'olusozi embibi yaayo yonna enjuyi zonna eriba ntukuvu nnyo. Laba, eryo lye tteeka ery'ennyumba.

13. Era kuno kwe kugerebwa kw'ekyoto ng'emikono bwe gyenkana: (omukono gwe mukono ko oluta:) entobo eriba ya mukono gumu, n'obugazi mukono gumu, n'omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa luta: era eyo ye eneeba entobo y'ekyoto.

14. N'okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi waliba emikono ebiri n'obugazi omukono gumu; n'okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene waliba emikono ena n'obugazi omukono gumu.

15. N'ekyoto ekya waggulu kiriba kya mikono ena: n'okuva ku kyoto wansi n'okwambukayo waliba amayembe ana.

16. N'ekyoto wansi kiriba emikono kkumi n'ebiri obuwanvu n'ekkumi n'ebiri obugazi, enjuyi zaakyo ennya nga zenkanankana.

17. N'omugo guliba emikono kkumi n'ena obuwanvu n'ekkumi n'ena obugazi, mu njuyi zaagwo ennya; n'omugo ogugwetooloola guliba kitundu kya mukono; n'entobo yaagwo eriba omukono gumu enjuyi zonna; n'amadaala gaagwo galitunuulira obuvanjuba.

18. N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bino bye biragiro eby'ekyoto ku lunaku lwe balikikola, okuweerangayo, okwo ebiweebwayo ebyokebwa n'okumansirangako omusaayi.

19. Bakabona, Abaleevi ab'oku zzadde lya Zadoki abandi okumpi, olibawa ente envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okumpeereza, bw'ayogera Mukama Katonda.

20. Era olitoola ku musaayi gwayo n'oguteeka ku mayembe gaakyo ana ne ku nsonda ennya ez'omugo ne ku mugo ogwetooloola; bw'otyo bw'onookirongoosanga n'okitangirira.

21. Era otwalanga ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agyokera mu kifo eky'ennyumba ekyalagirwa ebweru w'awatukuvu.

22. Awo ku lunaku olw'okubiri n'owangayo embuzi ennume eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi; ne balongoosa ekyoto nga bwe bakirongoosa n'ente.

23. Bw'olimala okukirongoosa, owangayo ente envubuka eteriiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo.

24. N'obisembeza mu maaso ga Mukama, bakabona ne babisuulako omunnyo ne babiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.

25. Mu nnaku omusanvu onootegekerangamu buli lunaku embuzi okuba ekiweebwayo olw'ekibi era bategekenga ente envubuka n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo.

26. Ennaku musanvu batangirirenga ekyoto bakirongoose; bwe batyo bwe baba bakyawula:

27. Awo bwe balimala ennaku ezo, olulituuka ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona baweerengayo ku kyoto ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe olw'emirembe; nange ndibakkiriza, bw'ayogera Mukama Katonda. s

About Ezekyeri Chapter 43

Read Ezekyeri Chapter 43 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ezekyeri
Chapter: 43
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezekyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ezekyeri Chapter 43 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ezekyeri Chapter 43?

Ezekyeri Chapter 43 is part of the Book of Ezekyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ezekyeri Chapter 43 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 12
  2. Engero Chapter 23
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 25
  5. Engero Chapter 17
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 10

Explore More from Ezekyeri

  1. Ezekyeri Chapter 40
  2. Ezekyeri Chapter 27
  3. Ezekyeri Chapter 35
  4. Ezekyeri Chapter 3
  5. Ezekyeri Chapter 14
  6. Ezekyeri Chapter 45
  7. Ezekyeri Chapter 15

Related Chapters & Readings

  1. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 6
  2. Zabbuli Chapter 61
  3. Zekkaliya Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 10
  5. 1 Yokaana Chapter 4
  6. Ezekyeri Chapter 7
  7. Yobu Chapter 34
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *