Olubereberye Chapter 32

For English

Read Olubereberye Chapter 32 Online

Read Olubereberye Chapter 32 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 32

Essuula 32

1. Yakobo ne yeegendera, ne bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.

2. Yakobo bwe yabalaba n'ayogera nti Lino lye ggye lya Katonda: n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Makanayimu.

3. Yakobo n'atuma ababaka okumukulembera eri Esawu muganda we mu nsi ya Seyiri, ye nnimiro ya Edomu.

4. N'abalagira ng'ayogera nti Bwe muti bwe muligamba mukama wange Esawu; nti Bw'ati bw'ayogera omuddu wo Yakobo nti Natuulanga ne Labbaani, ne mbeerayo okutuusa kaakano:

5. era nnina ente n'endogoyi, n'ebisibo, n'abaddu n'abazaana: era ntumye okubuulira mukama wange, ndabe ekisa mu maaso go.

6. Ababaka ne bakomawo eri Yakobo nga boogera nti Twatuuka eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana, n'abasajja bina wamu naye.

7. Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira: n'ayawulamu abantu abaali naye, n'ebisibo, n'ente, n'eŋŋamira, okuba ebibiina bibiri;

8. n'ayogera nti Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona.

9. Yakobo n'ayogera nti Ai Katonda wa jjajja wange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ai Mukama, eyaŋŋamba nti Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange naakukolanga bulungi:

10. sisaanira (newakubadde) akatono mu kusaasira kwonna, n'amazima gonna, bye wagiriranga omuddu wo; kubanga nawunguka Yoludaani guno nga nnina muggo gwokka; ne kaakano nfuuse ebibiina bibiri.

11. Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange, mu mukono gwa Esawu: kubanga mmutya, aleme okujja okunzita, ne bannyaabwe n'abaana baabwe.

12. Naawe wayogera nti Siiremenga kukukola bulungi, era naafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi.

13. N'asula awo ekiro ekyo: n'atoola ku ebyo bye yali nabyo okuba ekirabo kya Esawu muganda we;

14. embuzi enkazi bibiri n'ennume abiri; endiga enkazi bibiri n'ennume abiri;

15. eŋŋamira eziramulwa asatu n'abaana baazo; ente enkazi ana n'eza seddume kkumi, endogoyi enkazi abiri n'abaana baazo kkumi.

16. N'abiwa mu mukono gw'abbadu be, buli kisibo kyokka; n'agamba abaddu be nti Munkulembere musomoke, musseewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo.

17. N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti Oli w'ani? era ogenda wa? n'ebyo ebiri mu maaso go by'ani?

18. n'olyoka ogamba nti Bya muddu wo Yakobo; kye kirabo ekiweerezebbwa mukama wange Esawu; era, laba, naye ali nnyuma waffe.

19. Era n'alagira n'ow'okubiri n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamulaba.

20. Era munaayogera nti Era, laba, omuddu wo Yakobo ali nnyuma waffe: Kubanga yayogera nti Naamuwooyawooya n'ekirabo ekinankulembera ne ndyoka mmulaba amaaso ge; mpozzi anannyaniriza.

21. Awo ekirabo ne kimukulembera ne kisomoka: naye ye yennyini n'asula ekiro ekyo wamu n'ekibiina.

22. N'agolokoka ekiro ekyo, n’addira bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomokera mu musomoko gw'e Yaboki.

23. N'abatwala, n'abasomosa omugga, n'asomosa byonna bye yalina.

24. Yakobo n'asigalayo yekka; omusajja n'ameggana naye okutuusa emmambya bwe yasala.

25. Era bwe yalaba nga tajja kumumegga, n'akoma ku mbalakaso ye; embalakaso ya Yakobo ne yeereega, ng'ameggana naye.

26. N'ayogera nti Nta, kubanga emmambya esala. N'ayogera nti Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa.

27. N'amugamba nti Erinnya lyo ggwe ani? N'ayogera nti Yakobo.

28. N'ayogera nti Erinnya lyo terikyayitibwanga Yakobo, wabula Isiraeri: kubanga owakanye ne Katonda era n’abantu, era osinze.

29. Yakobo n'amubuuza n'ayogera nti Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo. N'ayogera nti Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange? N'amuweera eyo omukisa.

30. Yakobo n'atuuma ekifo erinnya lyakyo Penieri: kubanga ndabagaaye ne Katonda mu maaso, n'obulamu bwange buwonye.

31. Enjuba n'evaayo n'emwakako ng'awunguka Penueri, n'awenyera olw'ekisambi kye.

32. Abaana ba Isiraeri kyebava balema okulya ekinywa ky'ekisambi ekiri ku mbalakaso, okutuusa leero: kubanga yakoma ku mbalakaso ya Yakobo mu kinywa ky'ekisambi.

About Olubereberye Chapter 32

Read Olubereberye Chapter 32 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 32
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 32 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 32?

Olubereberye Chapter 32 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 32 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 17
  2. Engero Chapter 12
  3. Engero Chapter 25
  4. Engero Chapter 22
  5. Engero Chapter 19
  6. Engero Chapter 23
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 36
  2. Olubereberye Chapter 42
  3. Olubereberye Chapter 26
  4. Olubereberye Chapter 18
  5. Olubereberye Chapter 49
  6. Olubereberye Chapter 20
  7. Olubereberye Chapter 16

Related Chapters & Readings

  1. Okuva Chapter 35
  2. Okuva Chapter 8
  3. Omubuulizi Chapter 2
  4. Engero Chapter 16
  5. Yobu Chapter 20
  6. Ebikolwa Chapter 27
  7. Abaruumi Chapter 16
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *