Read Isaaya Chapter 25 Online
Read Isaaya Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 25
Essuula 25
1. Ai Mukama, ggwe Katonda wange; naakugulumizanga, naatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby'ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima.
2. Kubanga ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde ebyagwa: eriyumba ery'abagenyi olifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna.
3. Abantu ab'amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa, ekibuga eky'amawanga ag'entiisa kirikutya.
4. Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina bintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kubanga kibuyaga akunta ku kisenge.
5. Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano olw'abagenyi; ng'olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n'ekisiikirize ky'ekire, oluyimba olw'ab'entiisa lulikkakkanyizibwa.
6. Era ku lusozi luno Mukama ow'eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey'ebya ssava, embaga ey'omwenge omuka, ey'ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey'omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi.
7. Era alimirira ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna
8. Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abantu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.
9. Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka tulijaguliza obulokozi bwe.
10. Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng'ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag'olubungo.
11. Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng'awuga bw'ayanjuluza engalo ze okuwuga: era alikkakkanya amalala ge wamu n'enkwe ez'engalo ze.
12. N'ekigo eky'olukomera oluwanvu olwa bbugwe wo akikkakkanyizza, akissizza wansi, n'akituusa ku ttaka okutuuka ne mu nfuufu.
About Isaaya Chapter 25
Read Isaaya Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 25
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 25 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 25?
Isaaya Chapter 25 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 25 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 61
- Isaaya Chapter 45
- Isaaya Chapter 59
- Isaaya Chapter 29
- Isaaya Chapter 54
- Isaaya Chapter 22
- Isaaya Chapter 36