2 Ebyomumirembe Chapter 17

For English

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 17 Online

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Ebyomumirembe 17

Essuula 17

1. Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye, ne yeenyweza okulwana ne Isiraeri.

2. N'ateeka eggye mu bibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yalya.

3. Mukama n'aba ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu makubo ag'olubereberye aga kitaawe Dawudi n’atagenda eri ba Baali;

4. naye n'agendanga eri Katonda wa kitaawe, n'atambulira mu mateeka ge so si ng'ebikolwa bya Isiraeri bwe byali.

5. Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo.

6. Omutima gwe ne gugulumizibwa mu makubo ga Mukama: era n'aggyawo ebifo ebigulumivu ne Baasera mu Yuda.

7. Era mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'atuma abakungu be, Benikayiri ne Obadiya ne Zekkaliya ne Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda;

8. era wamu nabo Abaleevi, Semaaya ne Nesaniya ne Zebadiya ne Asakeri ne Semiramoosi ne Yekonasaani ne Adoniya ne Tobbiya ne Tobadoniya, Abaleevi; era wamu nabo Erisaama ne Yekolaamu, bakabona.

9. Ne bayigiriza mu Yuda nga balina ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu.

10. Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, n'okulwana ne batalwana ne Yekosafaati.

11. Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo ne ffeeza okuba omusolo; era n'Abawalabu ne bamuleetera embuzi, endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n'embuzi ennume kasanvu mu lusanvu.

12. Yekosafaati n'aba mukulu nnyo nnyini; n'azimba mu Yuda ebigo n'ebibuga eby'okuterekeramu.

13. Era yalina emirimu mingi mu bibuga bya Yuda; n'abasajja abalwanyi n'abasajja ab'amaanyi abazira mu Yerusaalemi.

14. Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; ku Yuda abaami b'enkumi; Aduna omwami, era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu busatu:

15. n'eyamuddirira Yekokanani omwami, era wamu naye obusiriivu bubiri mu obukumi munaana:

16. n'eyamuddirira Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe eri Mukama; era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu bubiri:

17. ne ku Benyamini; Eriyada omusajja ow'amaanyi omuzira, era wamu naye obusiriivu bubiri, abaakwatanga emitego n'engabo:

18. n'eyamuddirira Yekozabadi, era wamu naye akasiriivu mu obukumi munaana, abeeteeseteese okulwana.

19. Abo be baaweerezanga kabaka, obutassaako abo kabaka be yateeka mu bibuga ebyaliko enkomera okubuna Yuda yonna.

About 2 Ebyomumirembe Chapter 17

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 17
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 17 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Ebyomumirembe Chapter 17?

2 Ebyomumirembe Chapter 17 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 17 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2 Ebyomumirembe

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 34
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 19
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 9
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 10
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 6
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 22
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 15

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Okubala Chapter 23
  2. 2 Bassekabaka Chapter 17
  3. Eseza Chapter 3
  4. Okuva Chapter 10
  5. 2 Samwiri Chapter 2
  6. Olubereberye Chapter 27
  7. Zabbuli Chapter 127

Related Chapters & Readings

  1. Abafiripi Chapter 1
  2. 1 Ebyomumirembe Chapter 13
  3. Engero Chapter 8
  4. 1 Bassekabaka Chapter 22
  5. Engero Chapter 3
  6. Zabbuli Chapter 100
  7. Yeremiya Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *