Read 1 Abakkolinso Chapter 9 Online
Read 1 Abakkolinso Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Abakkolinso and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Abakkolinso 9
Essuula 9
1. Ssiri wa ddembe? ssiri mutume? ssaalaba Yesu Mukama waffe? mmwe temuli mulimu gwange mu Mukama waffe?
2. Oba nga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe: kubanga mmwe kabonero k'obutume bwange mu Mukama waffe.
3. Bwe mpoza bwe nti eri abo abankemereza.
4. Tetulina buyinza okulyanga n'okunywanga?
5. Tetulina buyinza okutwalanga omukazi ow'oluganda awamu naffe, era ng'abatume abalala, ne baganda ba Mukama waffe, ne Keefa.
6. Oba nze nzekka ne Balunabba tetulina buyinza obutakolanga mirimu?
7. Ani agenda okutabaala yonna yonna n'atabaaza ebintu bye ye? ani asimba olusuku n'atalya ku mmere yaamu? oba ani alunda ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo?
8. Ebyo njogera bya buntu? oba era n'amateeka tegoogera bwe gatyo?
9. Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti Togisibanga kamwa ente ng'ewuula. Katonda alowooza bya nte?
10. oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako.
11. Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri?
12. Oba nga abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetusinga bo? Naye tetwakoza buyinza obwo; naye tugumiikiriza byonna, tulemenga okuleeta ekiziyiza enjiri ya Kristo.
13. Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto?
14. Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira enjiri baliisibwenga olw'enjiri.
15. Naye nze sibikozanga ebyo n'ekimu: so siwandiise ebyo kiryoke kinkolerwenga nze bwe kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere.
16. Kubanga bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.
17. Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera: naye oba nga ssikola na kwagala, nnateresebwa obuwanika.
18. Kale mpeera ki gye nnina? Mbuulira enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukoleza ddala obuyinza bwange mu njiri.
19. Kuba newakubadde nga ndi wa ddembe eri bonna, nneefuula muddu eri bonna, ndyoke nfunenga abangi.
20. N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;
21. eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka.
22. Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu.
23. Era nkola byonna olw'enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo.
24. Temumanyi ng'abadduka mu kuwakana baddukanira ddala bonna, naye aweebwako empeera omu? Muddukenga bwe mutyo mulyoke muweebwe.
25. Era buli muntu awakana yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo balyoke baweebwe engule eryonooneka, naye ffe etayonooneka.
26. Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng'atamanyi; nnwana bwe nti si ng'akuba ebbanga:
27. naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.
About 1 Abakkolinso Chapter 9
Read 1 Abakkolinso Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Abakkolinso
Chapter: 9
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Abakkolinso Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Abakkolinso Chapter 9?
1 Abakkolinso Chapter 9 is part of the Book of 1 Abakkolinso in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Abakkolinso Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1 Abakkolinso
- 1 Abakkolinso Chapter 1
- 1 Abakkolinso Chapter 16
- 1 Abakkolinso Chapter 13
- 1 Abakkolinso Chapter 14
- 1 Abakkolinso Chapter 10
- 1 Abakkolinso Chapter 8
- 1 Abakkolinso Chapter 5
Explore More from Endagaano Empya
- Makko Chapter 14
- Abaruumi Chapter 2
- 1 Timoseewo Chapter 1
- Makko Chapter 5
- Ebikolwa Chapter 15
- Matayo Chapter 1
- 1 Yokaana Chapter 2