Read Ebyabaleevi Chapter 2 Online
Read Ebyabaleevi Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebyabaleevi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ebyabaleevi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ebyabaleevi 2
Essuula 2
1. Era omuntu yenna bw'awangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo eri Mukama ekitone kye kinaabanga kya butta bulungi: era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu:
2. awo anaakireeteranga abaana ba Alooni bakabona: naye anaakiggyangamu olubatu lwe olw'obutta obulungi bwakyo n'olw'amafuta gaakyo, awamu n'omugavu gwakyo gwonna; awo kabona anaabwokyanga okuba ekijjukizo kyakyo ku kyoto, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama:
3. n'ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.
4. Era bw'owangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo obwokeddwa mu kabiga, kinaabanga emigaati egitazimbulukuswa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibwako amafuta.
5. Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta bulungi obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta.
6. Onookyawulangamu ebitundu, obufukeko amafuta: kye kiweebwayo eky'obutta.
7. Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaakolebwanga n'obutta obulungi wamu n'amafuta.
8. Awo onooleetanga ekiweebwayo eky'obutta ekikolebwa n'ebyo eri Mukama: awo kinaaleeterwanga kabona, naye anaakitwalanga eri ekyoto.
9. Awo kabona anaalobolanga ku kiweebwayo eky'obutta ekijjukizo kyakyo, anaakyokeranga ku kyoto: ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
10. N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.
11. Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekikolebwa n'ekizimbulukusa: kubanga temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
12. Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ekitone eky'ebibereberye: naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi.
13. Era buli kitone eky'obutta bw'onoowangayo onookirungangamu omunnyo; so tokkirizanga ky'owaayo eky'obutta okubulwa omunnyo ogw'endagaano ya Katonda wo: awamu n'ebitone byo byonna onoowangayo omunnyo.
14. Era oba ng'owaayo ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye eri Mukama, onoowangayo okuba ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye byo eŋŋaano ng'ekyali ku birimba eyokebwa n'omuliro, eŋŋaano embetentere ku birimba ebibisi.
15. Awo onoogifukangako amafuta, era onoogiteekangako omugavu: ekyo kye kiweebwayo eky'obutta.
16. Era kabona anaayokyanga ekijjukizo kyakyo, ekitundu ky'eŋŋano yaakyo embetente, n'ekitundu ky'amafuta gaakyo, wamu n'omugavu gwakyo gwonna:kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
About Ebyabaleevi Chapter 2
Read Ebyabaleevi Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebyabaleevi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ebyabaleevi
Chapter: 2
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ebyabaleevi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ebyabaleevi Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ebyabaleevi Chapter 2?
Ebyabaleevi Chapter 2 is part of the Book of Ebyabaleevi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ebyabaleevi Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from ebyabaleevi
- Ebyabaleevi Chapter 18
- Ebyabaleevi Chapter 12
- Ebyabaleevi Chapter 16
- Ebyabaleevi Chapter 1
- Ebyabaleevi Chapter 20
- Ebyabaleevi Chapter 8
- Ebyabaleevi Chapter 14
Explore More from Endagaano Enkadde
- Zabbuli Chapter 65
- Yobu Chapter 34
- Yobu Chapter 20
- 2 Samwiri Chapter 12
- Yeremiya Chapter 2
- Yobu Chapter 25
- 1 Samwiri Chapter 10