Read Ekyabalamuzi Chapter 18 Online
Read Ekyabalamuzi Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyabalamuzi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ekyabalamuzi 18
Essuula 18
1. Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: ne mu nnaku ezo ekika ky'Abadaani beenoonyeza obusika obw'okutuulamu; kubanga okutuusa ku lunaku olwo obusika bwabwe baali nga tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri.
2. Awo abaana ba Ddaani ne batuma ab'omu kika kyabwe abasajja bataano ku muwendo gwabwe gwonna, abasajja abazira, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, okuketta ensi n'okugikebera; ne babagamba nti Mugende mukebere ensi: ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo.
3. Bwe baali bali eyo mu nnyumba ya Mikka, ne bategeera eddoboozi ly'omuvubuka Omuleevi: ne bakyama okugenda eyo, ne bamugamba nti Ani eyakuleeta wano? era okola ki mu kifo kino? era kiki ky'olina wano?
4. N'abagamba nti Bw'atyo ne bw'atyo Mikka bwe yankola, n’ampeera, nange ne nfuuka kabona we.
5. Ne bamugamba nti Tukwegayirira, buuza Katonda atulagule, tumanye oba ng'olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n'omukisa.
6. Kabona n'abagamba nti Mugende mirembe: olugendo lwammwe lwe mugenda luli mu maaso ga Mukama.
7. Awo abasajja abo abataano ne balyoka beegendera, ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu abali omwo, nga batuula mirembe, ng'engeri ey'Abasidoni bw'eri, nga basirise nga balina emirembe; kubanga tewaali muntu mu nsi nannyini buyinza eyandiyinzizza okubaswaza mu kigambo kyonna, era baabali wala Abasidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna.
8. Ne batuuka eri baganda baabwe e Zola ne Esutaoli: baganda baabwe ne babagamba nti Mwogera mutya?
9. Ne boogera nti Mugolokoke twambuke okulwana nabo: kubanga tumaze okulaba ensi, era, laba, nnungi nnyo: nammwe musirise? temugayaala kugenda n'okuyingira okulya ensi.
10. Bwe muligenda, mulisanga abantu abatamanyiridde, era ensi ngazi: kubanga Katonda agibawadde mu mukono gwammwe; ekifo ekitabulwamu kintu ekiri mu nsi.
11. Ne wavaayo okugenda ab'omu kika ky'Abadaani, abaava mu Zola ne mu Esutaoli, abasajja lukaaga abeesiba ebyokulwanyisa.
12. Ne bambuka, ne basiisira mu Kiriyasuyalimu mu Yuda: kyebava bayita ekifo ekyo Makanedani okutuusa leero: laba, kiri nnyuma w'e Kiriyasuyalimu.
13. Ne bavaayo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ne bajja ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.
14. Awo abasajja bataano abaagenda okuketta ensi ey'e Layisi ne baddamu ne bagamba baganda baabwe nti Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekyole, n'ekifaananyi ekisaanuuse? kale nno mulowooze ekibagwanira okukola.
15. Ne bakyamira eyo, ne bajja ne batuuka ku nnyumba y'omuvubuka Omuleevi, ye nnyumba ya Mikka, ne bamubuuza bw'ali.
16. N'abasajja bali olukumi abeesiba ebyokulwanyisa ab'oku baana ba Ddaani baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki.
17. N'abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ne bambuka ne bayingira omwo, ne batwala ekifaananyi ekyole, n'ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne kabona yali ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki wamu n'abasajja bali olukaaga abeesiba ebyokulwanyisa.
18. Awo abo bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka ne baggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n'abagamba nti Mukola ki?
19. Ne bamugamba nti Sirika, engalo zo oziteeke ku kamwa ko ogende naffe, obeere gye tuli kitaffe era kabona: kisinga obulungi ggwe okubeera kabona eri ennyumba y'omuntu omu, oba okuba kabona eri ekika n'ennyumba mu Isiraeri?
20. Omutima gwa kabona ne gusanyuka, n'atwala ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekyole, n'agenda wakati mu bantu.
21. Awo ne bakyuka ne beegendera; ne bakulembeza abaana abato n'ensolo n'ebintu.
22. Bwe baali balese ennyuma walako ennyumba ya Mikka, abasajja abaali mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana, ne batuuka ku baana ba Ddaani.
23. Ne bakoowoola abaana ba Ddaani. Ne bakyusa amaaso gaabwe ne bagamba Mikka nti Obadde otya okujja n'ekibiina ekyenkanidde wano?
24. N'ayogera nti Munziyeeko bakatonda bange be nnakola ne kabona ne mwegendera, nange nnina ki nate? kale mumbuuza mutya nti Obadde otya?
25. Abaana ba Ddaani ne bamugamba nti Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja ab'obusungu baleme okubagwako, naawe n'ofa n'ab'omu nnyumba yo.
26. Abaana ba Ddaani ne beetambulira: awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye.
27. Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze; ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise abatamanyiridde, ne babatta n'obwogi bw'ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro.
28. So tewaabaawo mulokozi, kubanga kyali wala We Sidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna: era kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu. Ne bazimba ekibuga ne batuula omwo.
29. Ne batuuma ekibuga erinnya lyakyo Ddaani, ng'erinnya lya Ddaani jjajjaabwe bwe lyali eyazaalirwa Isiraeri: naye erinnya ly'ekibuga lyali Layisi olubereberye.
30. Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole: ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye ne batabani be be baali bakabona eri ekika ky'Abadaani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako.
31. Awo ne beesimbira ekifaananyi kya Mikka ekyole kye yakola, ennaku zonna ennyumba ya Katonda ng'ekyali mu Siiro.
About Ekyabalamuzi Chapter 18
Read Ekyabalamuzi Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ekyabalamuzi
Chapter: 18
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyabalamuzi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ekyabalamuzi Chapter 18 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ekyabalamuzi Chapter 18?
Ekyabalamuzi Chapter 18 is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ekyabalamuzi Chapter 18 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from ekyabalamuzi
- Ekyabalamuzi Chapter 5
- Ekyabalamuzi Chapter 2
- Ekyabalamuzi Chapter 14
- Ekyabalamuzi Chapter 12
- Ekyabalamuzi Chapter 11
- Ekyabalamuzi Chapter 1
- Ekyabalamuzi Chapter 3
Explore More from Endagaano Enkadde
- Zabbuli Chapter 136
- Ezera Chapter 4
- Yobu Chapter 1
- Zabbuli Chapter 20
- Yeremiya Chapter 10
- Isaaya Chapter 50
- Ebyabaleevi Chapter 24