Omubuulizi Chapter 4

For English

Read Omubuulizi Chapter 4 Online

Read Omubuulizi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Omubuulizi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Omubuulizi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Omubuulizi 4

Essuula 4

1. Awo ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w'enjuba: era, laba, amaziga g'abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoozi baabwe, naye no nga tebalina abasanyusa.

2. Kyennava ntendereza abafu abaamala okufa okusinga abalamu abakyalaba;

3. weewaawo, ne ndowooza okusinga bombi oyo atannabaawo, atalabanga mulimu mubi ogukolebwa wansi w'enjuba.

4. Awo ne ndyoka ndaba okutegana kwonna na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa munne obuggya. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.

5. Omusirusiru afunya emikono gye, n'alya omubiri gwe ye.

6. Olubatu lumu wamu n'okutereera lusinga embatu bbiri wamu n'okutegana n'okugoberera empewo.

7. Awo ne nzirayo ne ndaba obutaliimu wansi w'enjuba.

8. Wabaawo ali omu, nga talina wa kubiri; weewaawo, talina mwana newakubadde ow'oluganda: naye okutegana kwe kwonna tekuliiko we kukoma, so n'amaaso ge tegakkuta bugagga. Kale nteganira ani, bw'ayogera, ne nnyima emmeeme yange ebirungi? Era n'ekyo butaliimu, weewaawo, kweraliikirira kungi.

9. Babiri basinga omu; kubanga baba n'empeera ennungi olw'okutegana kwabwe.

10. Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne: naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa.

11. Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma: naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka?

12. Era omuntu bw'asinga oyo ali yekka, ababiri be balimusobola; n'omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka.

13. Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyamanyi kubuulirirwa.

14. Kubanga mu kkomera mwe yava okuba kabaka; weewaawo, ne mu bwakabaka bwe yazaalibwa nga mwavu.

15. Nalaba abalamu bonna abatambulira wansi w'enjuba, nga baali wamu n'omulenzi, ow'okubiri, eyayimirira mu kifo kye.

16. Abantu bonna tebaaliko gye bakoma, abo bonna be yakulira: naye abo abalibaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.

About Omubuulizi Chapter 4

Read Omubuulizi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Omubuulizi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Omubuulizi
Chapter: 4
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Omubuulizi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Omubuulizi Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Omubuulizi Chapter 4?

Omubuulizi Chapter 4 is part of the Book of Omubuulizi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Omubuulizi Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from omubuulizi

  1. Omubuulizi Chapter 6
  2. Omubuulizi Chapter 12
  3. Omubuulizi Chapter 10
  4. Omubuulizi Chapter 2
  5. Omubuulizi Chapter 8
  6. Omubuulizi Chapter 7
  7. Omubuulizi Chapter 11

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 43
  2. Yeremiya Chapter 48
  3. Mikka Chapter 1
  4. Olubereberye Chapter 43
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 24
  6. Isaaya Chapter 1
  7. 2 Bassekabaka Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *