Read Ezera Chapter 1 Online
Read Ezera Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezera in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezera and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ezera 1
Essuula 1
1. Awo mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi n'okulangirira n'alangirira okubunya obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'ayogera nti
2. Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.
3. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda we abeere naye, ayambuke mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, (ye Katonda,) ali mu Yerusaalemi.
4. Era buli asigadde mu kifo kyonna mw'abeera nga mugenyi, abasajja ab'omu kifo kye bamubeere ne ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi.
5. Awo emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Yuda ne Benyamini ne bagolokoka, ne bakabona n'Abaleevi, bonna Katonda be yakubiriza omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi.
6. Awo abo bonna ababeetoolodde ne banyweza emikono gyabwe n'ebintu ebya ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo n'ebintu eby'omuwendo omungi obutassaako ebyo byonna bye baawaayo ku bwabwe.
7. Era Kuulo kabaka n'afulumya ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza bye yaggya mu Yerusaalemi n'abiteeka mu ssabo lya bakatonda be:
8. ebyo Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya mu mukono gwa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazzali omukulu wa Yuda.
9. Era guno gwe muwendo gwabyo: essowaani eza zaabu amakumi asatu, essowaani eza ffeeza lukumi, obwambe amakumi abiri mu mwenda;
10. ebibya ebya zaabu amakumi asatu, ebibya ebya ffeeza eby'omutindo ogw'okubiri ebikumi bina mu kkumi, n'ebintu ebirala lukumi.
11. Ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Ebyo byonna Sesubazzali yabiggyayo n'abireeta, abanyage bwe baggibwa e Babulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi.
About Ezera Chapter 1
Read Ezera Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezera in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ezera
Chapter: 1
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezera. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ezera Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ezera Chapter 1?
Ezera Chapter 1 is part of the Book of Ezera in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ezera Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from ezera
- Ezera Chapter 8
- Ezera Chapter 7
- Ezera Chapter 9
- Ezera Chapter 6
- Ezera Chapter 5
- Ezera Chapter 2
- Ezera Chapter 10