1 Samwiri Chapter 8

For English

Read 1 Samwiri Chapter 8 Online

Read 1 Samwiri Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Samwiri 8

Essuula 8

1. Awo olwatuuka, Samwiri ng'akaddiye, n'afuula batabani be abalamuzi ba Isiraeri.

2. N'omubereberye erinnya lye Yoweeri; n'ow'okubiri erinnya lye Abiya: baali balamuzi mu Beeruseba.

3. Batabani be ne batatambulira mu makubo ge, naye ne bakyama okugoberera ebintu, ne balya enguzi, ne balya ensonga.

4. Awo abakadde ba Isiraeri bonna ne balyoka bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama:

5. ne bamugamba nti Laba, ggwe oli mukadde, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go: kale tukolere kabaka atulamulenga ng'amawanga gonna.

6. Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti Tuwe kabaka atulamulenga. Samwiri n'asaba Mukama.

7. Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba: kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe.

8. Ng'emirimu gyonna bwe giri gye baakakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya mu Misiri okutuusa leero, kubanga bandeka ne baweereza bakatonda abalala, naawe bwe baakukola bwe batyo.

9. Kale nno kaakano wulira eddoboozi lyabwe: naye onoobategeereza ddala n'obalaga kabaka bw'alifaanana alibafuga.

10. Awo Samwiri n'abuulira abantu abaamusaba kabaka ebigambo bya Mukama byonna.

11. N'ayogera nti Bw'ati bw'alifaanana kabaka alibafuga: alitwala batabani bammwe n'abeewandiikira olw'amagaali ge era okuba abasajja be abeebagala embalaasi; awo banaddukiranga mu maaso g'amagaali ge:

12. era alibeewandiikira okuba abaami b'enkumi n’abaami b'ataano; era alissaawo abamu okulima ensi ye n'okukungula ebikungulwa bye, n'okuweesa ebintu bye ebyokulwanyisa n'ebintu eby'omu magaali ge.

13. Era alitwala bawala bammwe okufumbanga eby'akaloosa era okuba abafumbiro era okuba abasiisi.

14. Era alitwala ennimiro zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabibu n'ez'emizeyituuni, ezisinga obulungi, n'aziwa abaddu be.

15. Era alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'ensigo zammwe n'eky'ensuku zammwe ez'emizabibu n'agabira abaami be n'abaddu be.

16. Era alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'abalenzi bammwe abasinga obulungi n'endogoyi zammwe n'abakoza emirimu gye.

17. Alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'endiga zammwe: era muliba baddu be.

18. Era mulikaaba ku lunaku olwo olwa kabaka wammwe gwe muliba mwerondedde; so Mukama talibaddiramu ku lunaku olwo.

19. Naye abantu ne bagaana okuwulira eddoboozi lya Samwiri; ne boogera nti Nedda; naye twagala kabaka atufuge;

20. naffe tufaanane ng'amawanga gonna; kabaka waffe atusalirenga emisango, atabaalenga ng'atukulembedde atulwanirirenga entalo zaffe.

21. Samwiri n'awulira ebigambo byonna eby'abantu, n'abyogera mu matu ga Mukama.

22. Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi lyabwe obakolere kabaka. Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti Muddeeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.

About 1 Samwiri Chapter 8

Read 1 Samwiri Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Samwiri
Chapter: 8
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Samwiri Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Samwiri Chapter 8?

1 Samwiri Chapter 8 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-samwiri

  1. 1 Samwiri Chapter 15
  2. 1 Samwiri Chapter 6
  3. 1 Samwiri Chapter 25
  4. 1 Samwiri Chapter 10
  5. 1 Samwiri Chapter 9
  6. 1 Samwiri Chapter 27
  7. 1 Samwiri Chapter 20

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Ekyamateeka Chapter 8
  2. Yobu Chapter 10
  3. Ezekyeri Chapter 31
  4. Okubala Chapter 22
  5. Okuva Chapter 35
  6. Yobu Chapter 16
  7. Zabbuli Chapter 117

Related Chapters & Readings

  1. Yobu Chapter 32
  2. Yoweeri Chapter 2
  3. Isaaya Chapter 61
  4. Abaebbulaniya Chapter 10
  5. Yobu Chapter 41
  6. Ebikolwa Chapter 18
  7. Isaaya Chapter 42
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *