Yokaana Chapter 18

For English

Read Yokaana Chapter 18 Online

Read Yokaana Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yokaana and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yokaana 18

Essuula 18

1. Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n'afuluma n'abayigirizwa be ne basomoka akagga Kidulooni, eyali olusuku, n'agenda omwo ye n'abayigirizwa be.

2. Era ne Yuda amulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo: kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi n'abayigirizwa be.

3. Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajjayo ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu.

4. Awo Yesu bwe yamanya ebigambo byonna ebinaamujjira, n'avaayo n'abagamba nti Munoonya ani?

5. Ne bamuddamu nti Yesu Omunazaaleesi. Yesu n'abagamba nti Nze nzuuno. Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.

6. Awo bwe yabagamba nti Nze nzuuno, ne badda ennyuma ne bagwa wansi.

7. Ate n'ababuuza omulundi ogw'okubiri nti Munoonya ani? Ne bagamba nti Yesu Omunazaaleesi.

8. Yesu n'addamu nti Mbabuulidde nti nze nzuuno: kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende:

9. ekigambo kye yayogera kituukirizibwe nti Ku abo be wampa saabuzaako n'omu.

10. Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko.

11. Awo Yesu n'agamba Peetero nti Zzaamu ekitala mu kiraato kyakyo: ekikompe Kitange ky'ampadde, siikinywe?

12. Awo ekitongole ky'abaserikale, n'omwami waabwe omukulu, n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba,

13. ne basooka okumutwala eri Ana; kubanga yali mukoddomi wa Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka guli.

14. Era Kayaafa oyo ye yawa Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira abantu.

15. Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Awo omuyigirizwa oli yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, n'ayingira ne Yesu mu luggya lwa kabona asinga obukulu;

16. naye Peetero yali ayimiridde ebweru ku luggi. Awo omuyigirizwa oyo omulala eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n'afuluma n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero.

17. Awo omuwala oyo omuggazi w'oluggi n'agamba Peetero nti Naawe oli wa mu bayigirizwa ba muntu ono? N'agamba nti Siri waamu.

18. Abaddu n'abaweereza baali bayimiridde awo nga bakumye omuliro gw'amanda; kubanga yali mpewo; ne boota omuliro: ne Peetero naye yali nabo ng'ayimiridde ng'ayota omuliro.

19. Awo kabona asinga obukulu n'abuuza Yesu ebigambo by'abayigirizwa be, n'eby'okuyigiriza kwe.

20. Yesu n'amuddamu nti nze nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu.

21. Ombuuliza ki? buuza abampuliranga, bye nnabagamba: laba, abo bamanyi nze bye nnayogera.

22. Bwe yayogera ebyo omu ku baweereza eyali amuyimiridde okumpi n'akuba Yesu oluyi n'agamba nti Oddamu oti kabona asinga obukulu?

23. Yesu n'amuddamu nti Oba njogedde bubi, kinnumirize ekibi: naye oba kirungi, onkubira ki?

24. Awo Ana n'amuweereza nga musibe eri Kayaafa kabona asinga obukulu.

25. Ne Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Awo ne bamugamba nti Naawe oli wa mu bayigirizwa be? Ye ne yeegaana n'agamba nti Siri waamu.

26. Omu ku baddu ba kabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti Nze saakulabye naye mu lusuku muli?

27. Peetero ne yeegaana nate: amangu ago enkoko n'ekookolima.

28. Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako.

29. Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti Musango ki gwe mulanze omuntu ono?

30. Ne baddamu ne bamugamba nti Omuntu ono singa abadde takoze bubi, tetwandimuleese gy'oli.

31. Awo Piraato n'abagamba nti Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali. Abayudaaya ne bamugamba nti Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;

32. ekigambo kya Yesu kituukirizibwe, kye yayogera, ng'alaga okufa kw'agenda okufa bwe kuli.

33. Awo Piraato n'ayingira nate mu kigango, n'ayita Yesu n'amugamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?

34. Yesu n'addamu nti Kino okyogedde ku bubwo nantiki balala be bakubuulidde ebigambo byange?

35. Piraato n'addamu nti Nze ndi Muyudaaya? Ab'eggwanga lyammwe ne bakabona abakulu be bakundeetedde: okoze ki?

36. Yesu n'addamu nti Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.

37. Awo Piraato n'amugamba nti Kale ggwe kabaka? Yesu n'addamu nti Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange.

38. Piraato n'amugamba nti Amazima kye ki? Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti Siraba musango ku ye.

39. Naye mulina empisa, nze okubateeranga omu ku Kuyitako: kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?

40. Awo ne bakaayana, ne bagamba nti Si ono, wabula Balaba. N'oyo Balaba yali munyazi.

About Yokaana Chapter 18

Read Yokaana Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yokaana
Chapter: 18
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yokaana. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yokaana Chapter 18 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yokaana Chapter 18?

Yokaana Chapter 18 is part of the Book of Yokaana in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yokaana Chapter 18 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Yakobo Chapter 5

Explore More from yokaana

  1. Yokaana Chapter 14
  2. Yokaana Chapter 9
  3. Yokaana Chapter 4
  4. Yokaana Chapter 15
  5. Yokaana Chapter 16
  6. Yokaana Chapter 8
  7. Yokaana Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 36
  2. 1 Samwiri Chapter 23
  3. Omubuulizi Chapter 1
  4. 2 Samwiri Chapter 3
  5. Zabbuli Chapter 56
  6. Zabbuli Chapter 10
  7. Ebikolwa Chapter 18
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *