Yeremiya Chapter 42

For English

Read Yeremiya Chapter 42 Online

Read Yeremiya Chapter 42 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 42

Essuula 42

1. Awo abaami bonna ab'ebitongole ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,

2. ne basembera ne bagamba Yeremiya nnabbi nti Tukwegayiridde, okusaba kwaffe kukkirizibwe gy'oli, otusabire eri Mukama Katonda wo, ng'osabira ekitundu kino kyonna ekifisseewo; kubanga tusigaddewo batono fekka abaabanga abangi ng'amaaso go bwe gatulaba:

3. Mukama Katonda wo atulage ekkubo eritugwanira okutambuliramu n'ekigambo ekitugwanira okukola.

4. Awo Yeremiya nnabbi n'abagamba nti Mbawulidde; laba, naasaba Mukama Katonda wammwe ng'ebigambo byammwe bwe biri; kale olulituuka kyonna Mukama ky'alibaddamu ndikibabuulira; siribakisa kigambo kyonna.

5. Awo ne bagamba Yeremiya nti Mukama abe omujulirwa ow'amazima omwesigwa mu ffe, bwe tutalikola ng'ekigambo kyonna bwe kiriba Mukama Katonda wo ky'alikutuma gye tuli.

6. Oba nga kirungi oba nga kibi, tuligondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe gye tukutuma; tulyoke tubenga bulungi bwe tugondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe.

7. Awo olwatuuka ennaku kkumi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya.

8. Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,

9. n'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri gwe mwantuma okwanjula okusaba kwammwe mu maaso ge, nti

10. Bwe mulikkiriza okubeera mu nsi eno, kale ndibazimba, so siribaabya, era ndibasimba, so siribasimbula: kubanga nejjusizza obubi bwe nnabakola.

11. Temutya kabaka w'e Babulooni gwe mutya; temumutya, bw'ayogera Mukama: kubanga nze ndi wamu nammwe okubalokola n'okubawonya mu mukono gwe.

12. Era ndibawa okusaasirwa abasaasire, era abazzeeyo mu nsi yammwe.

13. Naye bwe munaagamba nti Tetugenda kutuula mu nsi eno; ne mutagondera ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe;

14. nga mwogera nti Nedda; naye tuligenda mu nsi y'e Misiri gye tutalirabira ntalo, so tetuliwulira ddoboozi lya kkondeere, so tetulirumwa njala olw'emmere; n'eyo gye tulituula:

15. kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafisseewo ku Yuda: bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Bwe mulikakasa amaaso gammwe ddala okuyingira mu Misiri, ne mugenda okubeera omwo;

16. kale olulituuka ekitala kye mutya kiribakwatira eyo mu nsi y'e Misiri, n'enjala gye mutidde eribacoccera eyo mu Misiri; era eyo gye mulifiira.

17. Bwe kityo bwe kiriba eri abasajja bonna abakakasa amaaso gaabwe okugenda e Misiri okubeera eyo; balifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: so tewaliba ku bo abalifikkawo newakubadde okuwona obubi bwe ndibaleetako.

18. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Obusungu bwange n'ekiruyi kyange nga bwe byafukibwa ku abo abaali mu Yerusaalemi, ekiruyi kyange bwe kirifukibwa ku mmwe bwe kityo bwe muliyingira mu Misiri: era muliba kikolimo n'ekyewuunyo n'okukolima n'ekivume; so temuliraba nate kifo kino.

19. Mukama ayogedde ku mmwe, ai ekitundu ekifisseewo ku Yuda, nti Temugenda mu Misiri: mutegeerere ddala nga leero nze mbadde mujulirwa gye muli.

20. Kubanga mukoze emmeeme zammwe mmwe eby'obukuusa; kubanga mwantuma eri Mukama Katonda wammwe nga mwogera nti Tusabire eri Mukama Katonda waffe; era nga byonna bwe biriba; Mukama Katonda waffe by'alyogera, tubuulire bw'otyo, naffe tulibikola:

21. era leero mbibabuulidde; naye temugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe mu kyonna ky'antumye gye muli

22. Kale nno mutegeerere ddala nga mulifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, mu kifo gye mwagala okugenda okubeera.

About Yeremiya Chapter 42

Read Yeremiya Chapter 42 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 42
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 42 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 42?

Yeremiya Chapter 42 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 42 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 12
  4. Engero Chapter 23
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 17
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 25
  2. Yeremiya Chapter 45
  3. Yeremiya Chapter 11
  4. Yeremiya Chapter 23
  5. Yeremiya Chapter 31
  6. Yeremiya Chapter 2
  7. Yeremiya Chapter 38

Related Chapters & Readings

  1. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 1
  3. Abaruumi Chapter 1
  4. Olubereberye Chapter 18
  5. Ebyabaleevi Chapter 10
  6. Okuva Chapter 21
  7. Olubereberye Chapter 13
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *