Tito Chapter 1

For English

Read Tito Chapter 1 Online

Read Tito Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Tito in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Tito and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Tito 1

Essuula 1

1. Pawulo, omuddu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okukkiriza kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda,

2. mu kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza ebiro eby'emirembe n'emirembe nga tebinnabaawo;

3. naye mu ntuuko ze yalabisa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri;

4. eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli: ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli.

5. Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga nga nze bwe nnakulagira;

6. omuntu bw'atabangako musango, ng'alina omukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu, so si abatagonda.

7. Kubanga omulabirizi kimugwanira obutabangako musango, ng'omuwanika wa Katonda; si mukakanyavu, si wa busungu, si ayombera ku mwenge, si akuba, si eyeegomba amagoba mu bukuusa;

8. naye ayaniriza abagenyi, ayagala obulungi, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeekuuma;

9. anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okubuulirira mu kuyigiriza okw'obulamu, era n'okusinga abayomba naye.

10. Kubanga eriyo bangi abatagonda, aboogera ebitaliimu, abalimba, era okusinga ba mu bakomole,

11. abagwanira okuzibibwanga emimwa; kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa:

12. Omu ku bo, nnabbi waabwe bo, yagamba nti Abakuleete balimba ennaku zonna, ensolo embi, embuto engayaavu.

13. Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova obaboggoleranga n'obukambwe, balyoke babeere n'obulamu olw'okukkiriza

14. balemenga okuwulira enfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyuka okuleka amazima.

15. Eri abalongoofu byonna birongoofu: naye abasiigibwa obugwagwa n'abatakkiriza eri abo tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa.

16. Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonna ekirungi.

About Tito Chapter 1

Read Tito Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Tito in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Tito
Chapter: 1
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Tito. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Tito Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Tito Chapter 1?

Tito Chapter 1 is part of the Book of Tito in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Tito Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Yakobo Chapter 5

Explore More from tito

  1. Tito Chapter 2
  2. Tito Chapter 1
  3. Tito Chapter 2
  4. Tito Chapter 1
  5. Tito Chapter 1
  6. Tito Chapter 2
  7. Tito Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 147
  2. Zabbuli Chapter 78
  3. Nakumu Chapter 3
  4. Ekyamateeka Chapter 18
  5. Okubala Chapter 6
  6. Yokaana Chapter 20
  7. Ebyabaleevi Chapter 25
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *