Read Olubereberye Chapter 21 Online
Read Olubereberye Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 21
Essuula 21
1. Mukama n'ajjira Saala nga bwe yayogera, era Mukama n’akola Saala nga bwe yagamba.
2. Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako.
3. lbulayimu n'atuuma omwana we eyamuzaalirwa, Saala gwe yamuzaalira, erinnya lye Isaaka.
4. Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka nga yaakamaze ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira.
5. Era Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kikumi, omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa.
6. Saala n'ayogera nti Katonda ansesezza buli anaawuliranga anaasekeranga wamu nange.
7. N'ayogera nti Aluwa oyo eyandigambye Ibulayimu nga Saala aliyonsa abaana be? kubanga mmuzaalidde omwana ow'obulenzi ng'akaddiye.
8. Omwana n'akula, n'ava ku mabeere: Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere.
9. Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'aduula.
10. Kyeyava agamba Ibulayimu nti Goba omuzaana ono n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, ye Isaaka.
11. N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo mu maaso ga Ibulayimu olw'omwana we.
12. Katonda n'agamba Ibulayimu nti Kireme okuba ekizibu mu maaso go olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo; mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.
13. Era ne mu mwana w'omuzaana ndimuviisaamu eggwanga, kubanga ye lye zzadde lyo.
14. Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, ng'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amusindika: n'agenda, n'atambuliratambulira mu ddungu ery'e Beeruseba;
15. N'amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n’asazika omwana wansi w'ekisaka ekimu.
16. N'agenda, n'atuula wansi ng'amutunuulira walako, ng'ebbanga akasaale we kagwa: kubanga yayogera nti Nneme okulaba omwana ng'afa. N'atuula ng'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.
17. Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; ne malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n’amugamba nti Obadde otya, Agali? totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali.
18. Golokoka, oyimuse omulenzi, omukwate mu ngalo zo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene.
19. Katonda n'azibula amaaso ge, n'alaba oluzzi lw'amazzi n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi.
20. Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale.
21. N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani: ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri.
22. Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola:
23. kale nno, ndayirira wano Katonda nga tonkuusekuusenga nze; newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange: naye ng'ekisa bwe kiri kye nkukoze, naawe ononkolanga bw'otyo nze, n'ensi gye watuulamu.
24. Ibulayimu n'ayogera nti Nnaalayira.
25. Ibulayimu n'anenya Abimereki olw'oluzzi lw'amazzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi.
26. Abimereki n'ayogera nti Simumanyi bw'ali eyakola bw'atyo; so tombuulirangako, so siwulirangako era, wabula leero.
27. Ibulayimu n'addira endiga n'ente, n'abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi.
28. Ibulayimu n'ateeka endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo wamu zokka.
29. Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Endiga ezo enduusi omusanvu z'otadde awamu zokka amakulu gaazo ki?
30. N'ayogera nti Endiga ezo enduusi omusanvu onooziweebwa mu mukono gwange, ekyo kibeere omujulirwa gye ndi, nga nze nnasima oluzzi olwo.
31. Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba; kubanga eyo gye baalayirira bombi.
32. Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba: Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi eya Abafirisuuti.
33. (Ibulayimu) n'asimba omumyulira mu Beeruseba, n'akoowoolera eyo erinnya lya Mukama, Katonda ataggwaawo.
34. Ibulayimu n'amala ennaku nnyingi mu nsi eya Abafisuuti.
About Olubereberye Chapter 21
Read Olubereberye Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 21
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 21?
Olubereberye Chapter 21 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 23
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 22
- Olubereberye Chapter 3
- Olubereberye Chapter 31
- Olubereberye Chapter 24
- Olubereberye Chapter 45
- Olubereberye Chapter 17
- Olubereberye Chapter 29