Read Omubuulizi Chapter 10 Online
Read Omubuulizi Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Omubuulizi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Omubuulizi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Omubuulizi 10
Essuula 10
1. Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa: bwe kityo obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa.
2. Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono.
3. Era, weewaawo, omusirusiru bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwaako, n'agamba buli muntu nga musirusiru.
4. Omwoyo gw'omukulu bwe gukugolokokerako, tovanga mu kifo kyo; kubanga okwemenya kukkakkanya okunyiiga okungi.
5. Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, ekiri ng'okusobya okuva eri omukulu:
6. obusirusiru aga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi
7. Nalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka.
8. Asima obunnya alibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimuluma.
9. Buli asimula amayinja galimuluma; n'oyo ayasa enku zimuleetera akabi.
10. Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera okussaako amaanyi: naye amagezi gagasa okuluŋŋamya.
11. Omusota bwe guluma nga tegunnalogebwa, kale omulogo taliiko ky'agasa.
12. Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimira ye yennyini.
13. Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru: n'enkomerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi.
14. Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo: naye omuntu tamanyi ebiribaawo; n'ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okumubuulira?
15. Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga.
16. Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, abakulu bo ne balya enkya!
17. Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo ne baliira mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!
18. Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya.
19. Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu: ne ffeeza eyanukulira byonna.
20. Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula: kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.
About Omubuulizi Chapter 10
Read Omubuulizi Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Omubuulizi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Omubuulizi
Chapter: 10
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Omubuulizi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Omubuulizi Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Omubuulizi Chapter 10?
Omubuulizi Chapter 10 is part of the Book of Omubuulizi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Omubuulizi Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
Explore More from omubuulizi
- Omubuulizi Chapter 5
- Omubuulizi Chapter 2
- Omubuulizi Chapter 12
- Omubuulizi Chapter 3
- Omubuulizi Chapter 7
- Omubuulizi Chapter 4
- Omubuulizi Chapter 1