Engero Chapter 7

For English

Read Engero Chapter 7 Online

Read Engero Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 7

Essuula 7

1. Mwana wange, okwatanga ebigambo byange, Oterekanga ebiragiro byange ewuwo.

2. Okwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu; N'etteeka lyange ng'emmunye ey'eriiso lyo.

3. Bisibenga ku mukono gwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo.

4. Gambanga amagezi nti Ggwe mwannyinaze; Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe:

5. Bikukuumenga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye.

6. Kubanga nalingiza mu ddirisa ery'ennyumba yange Mu mulimu omuluke ogw'omu ddirisa;

7. Ne ndaba mu batalina magezi, Ne ntegereza mu balenzi, Omuvubuka atalina kutegeera,

8. Ng'ayita mu luguudo kumpi ku mugguukiriro gwe, N'agenda mu kkubo eridda mu nnyumba ye;

9. Mu kizikiza, obudde nga buwungedde; Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi.

10. Kale, laba, ne wamusisinkana omukazi Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi, era ow'omutima omugerengetanya.

11. Muyombi era mukakanyavu; Ebigere bye tebibeera mu nnyumba ye:

12. Oluusi aba mu nguudo, oluusi mu bifo ebigazi, Era ateegera ku buli mugguukiriro.

13. Awo n'amukwata n'amunywegera, N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti

14. Ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe ziri wange; Leero mmaze okusasula obweyamo bwange.

15. Kyenvudde nfuluma okukusisinkana, Okunyiikira okunoonya amaaso go, era nkulabye.

16. Njaze ekitanda kyange n'amagodooli, N'engoye ez'amakuubo eza ppamba w’e Misiri.

17. Mpunyisizza bulungi ekiriri kyange N'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa.

18. Jjangu tukkute okwagala okukeesa obudde; Twesanyuse n'okwagala.

19. Kubanga baze tali ka, Yatambula lugendo lwa wala:

20. Yagenda ng'atwala ensawo eya ffeeza; Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo.

21. Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi, Amuwaliriza okugenda n'okwegonza okw'emimwa gye.

22. Amangu ago agenda amugobeberera, Ng'ente bw'egenda okusalibwa, Oba ng'amasamba bwe gagenda okukangavvula omusirusiru;

23. Okutuusa akasaale lwe kalifumita ekibumba kye; Ng'ennyonyi bw'eyanguwa okugwa mu kyambika, So tamanyi ng'alifiirwa obulamu bwe.

24. Kale nno, baana bange, mumpulirenga, Era mussengayo omwoyo eri ebigambo eby'omu kamwa kange.

25. Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze.

26. Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Weewaawo, ababe abattibwa ggye ddene.

27. Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe. Nga likka mu bisenge eby'okufa.

About Engero Chapter 7

Read Engero Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 7
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 7?

Engero Chapter 7 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 2
  2. Engero Chapter 29
  3. Engero Chapter 28
  4. Engero Chapter 27
  5. Engero Chapter 30
  6. Engero Chapter 23
  7. Engero Chapter 31

Related Chapters & Readings

  1. 1 Samwiri Chapter 22
  2. Zabbuli Chapter 70
  3. Ekyamateeka Chapter 14
  4. Zabbuli Chapter 123
  5. Zabbuli Chapter 9
  6. Okubikkulirwa Chapter 21
  7. Yokaana Chapter 9
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *