Read 2 Abakkolinso Chapter 6 Online
Read 2 Abakkolinso Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Abakkolinso and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Abakkolinso 6
Essuula 6
1. Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda
2. (kubanga ayogera nti Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi):
3. nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa;
4. naye mu byonna nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku,
5. mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, mu kusiiba;
6. mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi;
7. mu kigambo eky'amazima, mu maanyi ga Katonda; olw'ebyokulwanyisa eby'obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono,
8. olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, elw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa; ng'abalimba, era naye ab'amazima;
9. ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, era ne tutattibwa;
10. ng'abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna.
11. Akamwa kaffe kaasamiddwa eri mmwe, Abakkolinso, omutima gwaffe gugaziye.
12. Temufunze mu ffe, naye mufunze mu myoyo gyammwe.
13. Naye mulyoke munsasule bwe mutyo (mbabuulira ng'abaana bange), nammwe mugaziwe.
14. Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza?
15. Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba mugabo ki eri omukkiriza n'atali mukkiriza?
16. Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.
17. Kale Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama: So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza.
18. Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli, Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.
About 2 Abakkolinso Chapter 6
Read 2 Abakkolinso Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Abakkolinso
Chapter: 6
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Abakkolinso Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Abakkolinso Chapter 6?
2 Abakkolinso Chapter 6 is part of the Book of 2 Abakkolinso in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Abakkolinso Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2-abakkolinso
- 2 Abakkolinso Chapter 8
- 2 Abakkolinso Chapter 1
- 2 Abakkolinso Chapter 11
- 2 Abakkolinso Chapter 12
- 2 Abakkolinso Chapter 10
- 2 Abakkolinso Chapter 9
- 2 Abakkolinso Chapter 7
Explore More from Endagaano Empya
- Yokaana Chapter 14
- Lukka Chapter 6
- Yakobo Chapter 2
- 2 Abasessaloniika Chapter 1
- Abaebbulaniya Chapter 10
- Ebikolwa Chapter 23
- 1 Abasessaloniika Chapter 1