2 Ebyomumirembe Chapter 15

For English

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 15 Online

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Ebyomumirembe 15

Essuula 15

1. Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi:

2. n'afuluma okusisinkana Asa n'amugamba nti Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.

3. Era ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow'amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina mateeka:

4. naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba.

5. Ne mu biro ebyo nga tewali mirembe eri oyo eyafulumanga newakubadde eri oyo eyayingiranga, naye okweraliikirira kungi ne kuba ku bonna abaatuula mu nsi ezo.

6. Ne bamenyekamenyeka, eggwanga nga lirumba ggwanga linnaalyo, n'ekibuga nga kirumba kibuga kinnaakyo: kubanga Katonda yabeeraliikiriza ng'abalabya ennaku zonna.

7. Naye mubenga n'amaanyi, so n'emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu awammwe guliweebwa empeera.

8. Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yalagula, n'aguma omwoyo n'aggyawo eby'emizizo byonna mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini ne mu bibuga bye yaggya ku nsi ey'ensozi eya Efulayimu; n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g'ekisasi kya Mukama.

9. N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamini n'abo abaabeeranga nabo abaava mu Efulayimu ne Manase ne mu Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.

10. Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka, ogw'ekkumi n'etaano ogw'okufuga kwa Asa.

11. Ne baweerayo ku lunaku olwo eri Mukama nga baggya ku munyago gwe baaleeta ente lusanvu n'endiga kasanvu.

12. Ne bayingira mu ndagaano okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna;

13. era buli atakkirizenga kunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi.

14. Ne balayirira Mukama n'eddoboozi ddene n'okwogerera waggulu n'amakondeere n'eŋŋombe.

15. Yuda yenna ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna ne bamunoonya n'okwagala kwabwe kwonna; ne bamulaba: Mukama n'abawa okuwummula enjuyi zonna.

16. Era ne Maaka nnyina Asa kabaka n'amugoba mu bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akifuula nfuufu n'akyokera ku kagga Kidulooni.

17. Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo mu Isiraeri: naye omutima gwa Asa gwatuukirira ennaku ze zonna.

18. N'ayingiza mu nnyumba ya Katonda ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu.

19. Ne watabanga ntalo nate okutuusa omwaka ogw'asatu mu etaano ogwa Asa.

About 2 Ebyomumirembe Chapter 15

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 15
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 15 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Ebyomumirembe Chapter 15?

2 Ebyomumirembe Chapter 15 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 15 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2 Ebyomumirembe

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 34
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 19
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 9
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 22
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 6
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 14
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 10

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Ekyabalamuzi Chapter 12
  2. Zabbuli Chapter 105
  3. Ebyabaleevi Chapter 16
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 20
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 32
  6. Nekkemiya Chapter 10
  7. Yoswa Chapter 14

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 16
  2. Isaaya Chapter 61
  3. Okuva Chapter 31
  4. 1 Bassekabaka Chapter 14
  5. 2 Bassekabaka Chapter 17
  6. Abaebbulaniya Chapter 4
  7. Isaaya Chapter 8
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *